bp. luwalira ayambalidde abatyoboola eddembe lya bannamawulire
May 09, 2025
OMULABIRIZI w’e Namirembe eyawummula, Bp. Wilberforce Kityo Luwalira atabukidde ebitongole by’ebyokwerinda n’abantu ssekinnoomu abatulugunya bannamawulire kyokka nga bakola omulimu ogw’ettendo mu buweerezabw’eggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision
OMULABIRIZI w’e Namirembe eyawummula, Bp. Wilberforce Kityo Luwalira atabukidde ebitongole by’ebyokwerinda n’abantu ssekinnoomu abatulugunya bannamawulire kyokka nga bakola omulimu ogw’ettendo mu buweereza
bw’eggwanga.
Yabyogeredde ku kkanisa ya St. Luke Nabweru mu kusaba kwategekeddwa munnamawuliire Zambaali Bulasio Mukasa, omu ku bateekateeka okwesimbawo
mu munisipaali y’e Nansana nga kwetabiddwaako n’akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi.
Mu kusaba kuno Bp. Luwalira yekokkodde ebikolwa by’effujjo n’okutyoboola eddembe lya bannamawulire ebisusse ensangi zino nga basaka amawulire g’ebyokulonda n’asaba be kikwatako okukimanya nti munnamawulire si mulabe waabwe wabula
muzindaalo gw’ebyo ebirina okussibwako essira. Ssenyonyi yalabudde abeerimbika mu kibiina kya NUP ne bakola effujjo n’ategeeza nti bano bakikola ku lwabwe.
Ssenyonyi yasabye bannaddiini okwongera eddoboozi mu kuvumiriiram ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu omuli n’okuwamba bannakibiina kya NUP, okutulugunya bannamawuliire n’ebirala.
Zambaali yategeezezza nti ayagala kukiikirira munisipaali y’e Nansana gy’agamba erekeddwa emabega naddala mu buweereza
No Comment