Kabbokabakyala mwekwate okufuna obwagazi

May 10, 2025

KIZITO Nsubuga, omunoonyereza ku muddo ogw’enjawulo n’emmere mu kitongole kya College of Natural Sciences ku Makerere University, annyonnyola emigaso egy’enjawulo egiri mu muddo gwa kabbokabakyala eri abasajja.

NewVision Reporter
@NewVision

KIZITO Nsubuga, omunoonyereza ku muddo ogw’enjawulo n’emmere mu kitongole kya College of Natural Sciences ku Makerere University, annyonnyola emigaso egy’enjawulo egiri mu muddo gwa kabbokabakyala eri abasajja.
Akaddo ka kabbokabakyala abamu bakayita kutukumu, mu ssaayansi kayitibwa ‘Hydrocotyle asiatica’. Kano keefanaanyiriza ‘Embutamu’. Okusinga ebikoola bye bikozesebwa, obikaza n’okolamu ensaano n’oginywa ku caayi oba okubikamulamu omubisi. Osobola okubifumba ng’ebivaavava oba okubifumba n’onywamu amazzi.
EMIGASO GYA KABBOKABAKYALA
 Kabbokabakyala kalimu ebirungo ebiyamba okutereeza obusimu naddala mu basajja abatalina bwagazi.
 Ekirungo kye kimu kiyamba okulongoosa entambula y’omusaayi n’okuleeta ebbugumu mu mubiri naddala ku basajja abatawangaala mu kisaawe.
 Kalimu ekirungo ekirwanyisa obuwuka obusirikitu obwa bakitiriya obulwaza abasajja ne buvaako okulumizibwa n’okusiiyibwa mu bitundu byekyama.
 Ekirungo kya ‘zinc’ ekirimu kiyamba mu kuzaala enkwaso ezimala n’osobola okuzaala.
 Kalimu ekirungo ekiyamba ku basajja abagaziye akatungulu k’abasajja (prostate) n’abafuuyisa ng’omusulo teguvaayo bulungi.
 Kalimu ekirungo ekikuuma omutima nga mulamu bulungi n’osaza kimu.
 Ekirungo ekirala ekisangibwamu kiyamba ku ntambula y’omusaayi ennungi mu mubiri ekiwa abaami amaanyi okusituka. 

EMIGASO EMIRALA 

Ekirungo ekisangibwa mu kabbokabakyala kiyamba okuwonya amangu amabwa.
 Ekirungo kya ‘zinc’ ekiri mu kaddo kano kiyamba omubiri okulwanyisa endwadde.
 Vitamiini B, B2, B3 ne B6 ebirimu biyamba okufuna amaanyi, obwongo
 kukola obulungi n’okuzimba obusimu bw’omubiri.  Kabbokabakyala akomyawo ekyagala okulya.
 Ayamba ku bulwadde bwa ssukaali, puleesa n’omusujja.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});