Obubenje obweyongedde mu Mabira olw’ebinnya bweraliikirizza Abalamazi

May 13, 2025

OBUBENJE obweyongedde mu Mabira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja bweraliikirizza abalukozesa.

NewVision Reporter
@NewVision

OBUBENJE obweyongedde mu Mabira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja bweraliikirizza abalukozesa.
Ebinnya bisinga wakati wa Lugazi ne Njeru ekitadde abagenda okulukozesa mu biseera by’okulamaga olw’e Namugongo mu kaseera akazibu.
Empompogoma z’ebinnya zivuddeko abeebidduka okuvuga obubi nga bava ku ludda kwe balina okuvugira ne badda ku lulala olw’okwewala okugwa mu binnya.
Abagoba b’ebidduka abalala naddala abavuga lukululana olw’okuba baba badduka nnyo, mmotoka zibalemerera ne batomera abemmotoka entono nga bwe bubenje obweyongedde ennyo mu Mabira n’awalala.
Gye buvuddeko ekitongole ekyali kivunaanyizibwa ku nguudo kyaddaabiriza ekitundu ku Mabira ekyali kyonoonese ennyo ekyali kiviirako akalippagano k’ebidduka e Kinoni
nga mu kiseera kino ekitundu ekyokiri yaddeyaddeko.
Wabula ebitundu bya Mabira ebirala byasigala tebiddaabiriziddwa ra Gen. Katumba Wamala, minisita avunaanyizibwa ku by’emirimun’enguudo yategeeza nga bwe
 wataaliwo ssente zimala kuddaabiriza na kuziba binnya byonna mu Mabira.
Mu kiseera kino awasinga okuba awabi kuliko e Buwoola ng’oyingira ekkoona oba nga waakayita ku poliisi mu Mabira. Mu wiiki emu yokka waaguddewo obubenje obusukka
obutaano okuli n’aka lukululana eyabadde etisse konteyina ng’eva Jinja.
Yabadde eyisa ttakisi nayo eyabadde eva e Jinja ne yeekanga lukululana eyabadde eva e Kampala ate ng’etuuse ku binnya kwe kusala adde ku ludda lwe, konteyina n’ewanukayo n’egwira ttakisi.
Abaabadde mu takisi baabadde bava Mbale. Endala lukululana yabadde yeetisse sseminti era yenna yagudde mu mazzi.
Ebifo ebirala ebyobulabe kuliko; okutandikira mu bikajjo okumpi n’omugga Musaamya wano ebinnya binene era abagoba b’ebidduka awalungiko we bayita
Bw’oyambuka waggulu okumpi n’omuzikiti gw’e Bulyanteete ebinnya byasima oluguudo, UNRA lwe yali eyiyeemu amayinja kyokka mmotoka zaagakubira wiiki emu
ebinnya ate ne byeyongera Bw’oba waakava ku katale k’e Najjembe ng’odda Jinja wano ne Katumba Wamala yatuukawo abakulu okwali omubaka wa PalamentiStephen Sserubula ne kansala wa disitulikiti Willy Kiwanuka ne bamusaba nabyo bizibibwe kyokka n’abategeeza nga bwe wataali ssente nti kye bakozeeko kyali kimala.
OKULAMAGA E NAMUGONGO
Nga wabula mbale okulamaga e Namugongo kutuuke, embeera bw’esigala nga bweri,
abalamazi abava mu bitundu by’e Busoga, Bukedi, Budaama ssaako abava e Kenya bali  mu katyabaga olw’ebinnya ebiyinza okuvaako
obubenje.
Walina okubeerawo ekikolebwa mu bwangu okutaasa obulamu bw’abantu abo buleme kutokomokera mu bubenje ekiyinza n’okutuwa ekifaananyi ekibi nga bwe kyali mu mwaka gwa 1997 omulamazi John Kibe eyali ava mu Kenya e Kakamega bwe yatomerwa mmotoka n’emuttira awo wennyini e Buwoola nga na kati ekijjukizo kikyaliwo era abalamazi abava e Kenya beegatta ku bannaabwe aba Mbikko Parish ne basoma mmisa okumujjukira.
Omubaka wa Palamenti owa Lugazi Munisipaali yalambudde ebifo ebyobulabe gye yasanze n’emmotoka ezaabadde zaakagwa nga waliwo n’endala ezaagwa kyokka nga konteyina tezinnaggyibwawo. Sserubula yagambye nti buli kimu akikoze okutegeeza be kikwatako ku mbeera y’oluguudo mu Mabira wabula nti kati agenda kukizzaayo mu Palamenti.
Bo abasawo mu ddwaaliro e Kawolo nabo bakola butaweera era be twogeddeko nabo mu kifo awatuukirwa abayi bagambye nti aboobubenje bangi.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezzibwa, Helen Butoto akasizza omuwendo gw’obubenje okweyongera n’agamba nti ekizibu abakozesa oluguudo abasinga ebinnya
ebinene we biri bamanyiiwo kyokka basigala bavuga ndiima n’abasaba okukozesa obulungi oluguudo

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});