Ekitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda kigenda kufuula okwanjula eky'obulambuzi
May 14, 2025
KITONGOLE ky’Obwakabaka eky’ebyobulambuzi ki Buganda Heritage & Tourism Board kiteekateeka okugatta emikolo okuli okukyala n’okwanjula ku lukalala lw’ebyobulambuzi.

NewVision Reporter
@NewVision
KITONGOLE ky’Obwakabaka eky’ebyobulambuzi ki Buganda Heritage & Tourism Board kiteekateeka okugatta emikolo okuli okukyala n’okwanjula ku lukalala lw’ebyobulambuzi.
Najib Nsubuga nga y’akulira ekitongole kino yaabotodde ekyama kino bwabadde aggulawo omusomo oguyitibwa Ssemasomo w’Abalungamya b’emikolo e Bulange-Mmengo nga gugendereddwamu okubalungamya.
“Omukolo gw’okwanjula gwetukola wano e Buganda,mukolo gwa byabulambuzi. Mu nteekateeka yaffe yakukolagana n’abalungamya okulaba nti twongera amaanyi mu kutumbula omukolo guno. Omuntu ave e Bulaaya,mu Amerika ng’azze kulaba engeri Abaganda gyebawasaamu,” Nsubuga bwayogedde.
Nsubuga ayongedde n’ategeeza nti ebintu ebikolebwa mu kwanjula kw’Omuganda byewunyisa era binyuma lwakuba mu kiseera kino olw’obutabaawo nteekateeka,abazungu oba abalambuzi abalala,bwebajja kuno,bino babanyumiza binyumiza nga kati baagala babyerabireko.
Nsubuga asabye nti mu kulongoosa entambuza y’emikolo gy’obufumbo,abalungamya ku njuuyi zombi okuli olw’omusajja n’Omukyala okuwuliziganya ng’omukolo tegunabeerawo balabe bwebayinza okugulungamya,guleme kumalirizibwa ate nga famire zeeyuzizza.
Ssentebe w’ekibiina ekitaba abalungamya b’emikolo mu Buganda, Isma Kajja ategezezza nti guno mulundi gwa mukaaga nga buli mwaka babangula abo abaagala okutandika okukola omulimu gw’Okulungamya emikolo.
Kajja ategezezza nti omusomo guno gugenda kubeera gwa nnaku bbiri era bwatyo n’ayitayita mu bimu ku bigenda okusomesebwa abo abagwetabyemu.
Enteekateeka y’emisomo gino yagendererwamu okubangula abalungamya kubanga emikolo gino mikulu nnyo mu kuzimba amaka ate n’okutumbula olulimi Oluganda
No Comment