Owa UEDCL asimattuse okugajambulwa

May 14, 2025

OMUKOZI w'ekitongole kya UEDCL asimattuse okugajambulwa abatuuze ababadde bekalakaasa olw'amasannyalaze agamaze omwezi mulamba nga tegaliiko ekiviriddeko emirimu gy'abamu okuyimirira.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUKOZI w'ekitongole kya UEDCL asimattuse okugajambulwa abatuuze ababadde bekalakaasa olw'amasannyalaze agamaze omwezi mulamba nga tegaliiko ekiviriddeko emirimu gy'abamu okuyimirira.
 
Eyasimattuse okugajambulwa tategeerekese mannya ge kyokka nga kigambibwa nti y'omu ku bakola ku bya masannyalaze mu kitundu kye Nsekwa-Namusera mu Wakiso Town Council mu disitulikiti ye Wakiso.
 
Ono okusalibwako abatuuze kiddiridde abatuuze ku Lwokusatu kumakya okukeera okuziba ekkubo ne bakuma n'ebipiira wakati mu luguudo nga balumiriza ekitongole ky'amasannyalaze obutabafaako ng'amasannyalaze gagenze.  
Kyokka baabadde bakyayokya ebipiira, ne balala omukozi mu kitongole kya UEDCL ng'atambulira ku piki piki era bano nebamutega ebiti ssaako okumuwerekereza ebigambo nga bamulangira obutabafaako.
 
Ono baamusoyezza ebibuuzo nga bwe bamulagira okuva ku piki, kyokka nga talina ky'abaddamu ekyanyizizza abamu ne baagala okumukuba, kyokka abamu nebagaana bannabwe okutwalira amateeka mungalo.
 
Nga bakyamukunya kunya, poliisi okuva e Bakka mu Wakiso, yatuuse mukifo kyokka abatuuze nebasigala nga bakuma ebipiira ssaako abamu okuremera kumukozi wa UDECL.
 
      Kino kyawalirizza poliisi okukuba amasasi mu bbanga era abamu ku batuuze nebabuna emiwabu wakati mukugobagana n'abebyokwerinda okuli n'abaabadde mungoye zabulijjo.
 
Abantu nga beekalakaasa olw'ebbula ly'amasannyalaze

Abantu nga beekalakaasa olw'ebbula ly'amasannyalaze

      Mu bukuumi obungi, poliisi yatasizza era neddusaawo owa UEDCL ne piki piki ye nnamba UEZ 784L gye yabadde atambulirako oluvannyuma nezikiza omuliro ogwaabadde gukumiddwa mu kkubo.
 
      Omu ku batuuze Frank Kabuye yagambye nti kyewunyisa okuba nga bamaze omwezi mulamba nga tebalina masannyalaze olwa tulansifooma yabwe okufa kyokka nga nebwebatukirira abakulu tebalina kye babayamba.
 
      "Ekyalo kyaffe kiriranye oluguudo lwa Hoima, naye twewunya okuba nga omwezi guno gwonna tetulina masannyalaze, naffe okwekyawa okulumba ono omukozi nga twagala atubuulire kiki ekyagaana." Kabuye bweyayongeddeko.
 
      Ye Juliet Nazziwa ng'atunda byakunywa, agamba nti omwezi mulamba takoze kuba abantu abagala eby'okunywa ebinnyogoga kati babijja mu kabuga ke Wakiso, nga kati tamanyi kyagenda kusasuza landiloodi mukifo wapangisa.
 
Yasabye ekitongole kya UEDCL okugenda okubataasa era nalayira nti singa wayitawo ennaku nga tebagenze, bakuddamu okulaga obutali bumativu bwabwe okuli n'okulumba ekitebe kyabwe.   
Owa UEDCL nga yewozaako wakati mu lujjudde lw'abantu

Owa UEDCL nga yewozaako wakati mu lujjudde lw'abantu

      Ssentebe w'ekyalo Nsekwa Ssalongo William Musigire yagambye nti bakoze ekisoboka okutuukirira ofiisi zonna ezikwatibwako, kyokka abakolamu nebakoma kukubasuubiza nga bwebagenda okubakolera kunsonga zaabwe.
      "Tulina ekizibu ky'enzikiza kuba n'abamenyi b'amateeka bakozesa omukisa guno okunyaga abantu olw'okuba enzikiza y'amaanyi. Tusaba abakulu ku disitulikiti batuyambeko kuba ffe tutambudde buli wamu naye nebigaana." Musigire bweyayongeddeko.
      Yagambye nti bagenda kugenda mumaaso n'okulaga obutali bumativu mumbeera yonna kuba ekizibu kino kikozesezza abantu bangi nga abamu tebalina nakyebalya
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});