Ndeeeeba;Akabuga abanoonya sipeeya, embaawo ne pikipiki gye beeyuna
May 15, 2025
PIKIPIKI, ebibanda bya mmotoka, sipeeya w’ebidduka, embaawo ne galagi bye bimu ku bikuzizza akabuga Ndeeba. Zino ze bizinensi z’oteekayo n’obeera ku 'suwa' nga enjogera y’ennaku zino bw'eri, nti zigenda kutambula bulungi.

NewVision Reporter
@NewVision
PIKIPIKI, ebibanda bya mmotoka, sipeeya w’ebidduka, embaawo ne galagi bye bimu ku bikuzizza akabuga Ndeeba. Zino ze bizinensi z’oteekayo n’obeera ku 'suwa' nga enjogera y’ennaku zino bw'eri, nti zigenda kutambula bulungi.
Olw’okuba bizinensi zino za bbeeyi, ezeetaaga ssente eziwera okutandika n’okuzibeezaawo, kipaazizza nnyo bbeeyi y’amaduuka ekigobyemu bubizinensi obutono, ate abawalirizza babussa mmnju olwo emiryango ne balekerayo 'abanene' abalina ssente ezeegasa.
Bizinensi ezisinga okutunda mu Ndeeba mulimu; okutunda emmotoka, pikipiki, sipeeya, ggalagi, embaawo ssaako amaduuka agatunda ebizimbisibwa. Embeera eno ereetedde bbanka nnyingi okusimbayo amakanda, era kumpi onna eziri mu ggwanga zirinayo
amatabi.
Bubizinensi obutono obusobola okutunda mu Ndeeba, be bafumba emmere n’ebyokunywa okuliisa abakolerayo. Ndeeba asangibwa kiromita ttaano okuva ku Post Office mu Kampala wakati. Ndeeba gumu ku miruka 13, egikola munisipaali y’e Lubaga ng'alimu ebyalo 15 okuli; Tomusange, Mutebi, Wilson, Mutaawe, Spire, Kayanja, Mutebi, Kidoomoole, Betania, Nsiike I, Nsiike II, Kajubi, Aggrey, Mpomba ne Central.
Ssentebe wa zooni ya Mutaawe, Emmanuel Kizza agamba; Abantu batono abasula mu kitundu abasinga bakoleramu ne badda gye basula. Ekitundu ekisinga obunene mulimu bizinensi za ggalagi, kumpi buli mmita 30 z’otambula osangawo. Erinnya Ndeeba lyava ki?; Ssentebe wa zooni ya Mutebi, Mulwana Mmeregulwa agamba nti erinnya Ndeeba lyatandikira ku mirembe gya Ssekabaka Mwanga, abantu abaagendanga mu lubiri,
bwe baabagabulanga emmere, nga tewali masowaani nga bagibateera ku ndagala ennamu ezaayitibwanga 'endeeba oba empombo' ng’abamu basibako okutwala
awaka. Ekifo kino lwali lutobazzi nga waaliwo olusaalu, bwe baatuukangawo abamu nga atuula ne balya bye baggye mu lubiri, olwo endeeba ne bazisuula awo. Bwe baabanga boogera omu ng’agamba munne nti ka nkusange awo mu ndeeba', erinnya Ndeeba ne likala.
Wabula waliwo abagamba nti, mu kifo ekyo waalingawo olusuku abaweereza mu lubiri mwe baasalanga endeeba' oba empombo zebaakozesanga mu lubiri, ekyaviirako
okuyitibwa Ndeeba.
Makanika ow’amaanyi, Haji Sulaiman Kasumba amanyiddwa nga Katwalo, owa Katwalo Garage agamba yaakamala mu Ndeeba emyaka egisoba mu 50.
Nti olw’okuba mu Ndeeba we baakanikiranga buli kika kya mmotoka okuli n’ez’amagye, baabayitanga abayeekera abamu ne babuzibwawo.
Omusuubuzi wa pikipiki Sgt. Major Joshua Justus K. owa Jiu Zhou Motorcycles eza Ttukutuku, agamba nti mu Ndeeba bizinensi ya pikipiki etambula bulungi kuba
buli alowooza ku kugula piki gy’asookera, ate era we wali ne sipeeya waazo.
Omu ku bannannyini bibanda by’embaawo mu Ndeeba, Ponsiano Besesa owa kkampuni ya Besepo Uganda Ltd esala n’okutunda embaawo, agamba y’omu ku
baludde mu bizinensi eno gye yayingira mu 1980.
“Ebiseera ebyo Ndeeba lwali lutobazzi naye ng’abembaawo mwebali abatonotono. Ffe Abakiga nga ffe tusala embaawo ne tusuubuza Abaganda abaazitundanga, nga ffe tetutunda, nazisaliranga Kyaggwe abalala Kasanje.
Mu biseera ebyo ng'ekitebe kyazo kiri mu Kikuubo. Oluvannyuma naffe twatandika okuzitunda era twatandikira wano muNdeeba. Bwe twatandika, olwo entabiro yaazo n’edda wano mu Ndeeba, ng'aba bizinensi endala batandise okupangisa amaduuka
g’omu Kikuubo.
Pikipiki zajja luvannyuma ng’abasuubuzi batandise okugendako e Japan okusuubula. Omugenzi Bulaimu Muwanga Kibirige (BMK), Big Ways, omugagga Yanga be
bamu ku baasooka okutuusa pikipiki mu Ndeeba nazo ne ziwamba. Ekibi ku Ndeeba, ekkubo eddene lyokka lye likola, emabega bizinensi zikola kitono. Kati abagagga batandise kuzimbayo‚ Ware House ezitereka ebyamaguzi ekyongedde okukweka bizinensi ate n’abantu tebakyabeeramu nnyo.
Bbeeyi y’amaduuka mu Ndeeba Olwa bizinensi ez’amaanyi ezikolebwa mu Ndeeba, kipaazizza ebbeeyi y’amaduuka, ku luguudo olunene (ku main), edduuka litandikira
ku bukadde bubiri okudda waggulu okulipangisa ate munda gy’osanga agali wakati wa 400,000/- okutuuka ku 1,500,000/-, abalala ne munda bassaayo konteyina nabwo
ne bassaamu sipeeya.
Ennyumba ezisulwamu mu Ndeeba za bbeeyi layisi, amataba gaazidibya anti ziri mmanju wa kibuga tebazeettanira nnyo, kyaviirako abagezigezi okuzimba obuyumba
bwe baakazaako erya “Nsi yaleeta”, buno bwa mbaawo nga bwa kalina bukozesebwa nga loogi n’okusulamu ng’osasula buli lunaku, ekyongera obumenyi bw’amateeka.
Ebizibu bya Ndeeba
l Ekizibu kya Ndeeba ekisinga ge mataba aganjaala mu mayumba ng’enkuba etonnye. Kiva ku bantu abazimbye ne batalekaawo mazzi we gayita. Okukabassanya abaana abato
kungi olw’omugotteko mu bitundu ebisinga ssaako obwamalaaya. l Mmereegulwa, ssentebe wa zooni ya Mutebi agamba nti mu Ndeeba temuli makubo gatuuka ku kkubo
eddene buli agula, azimba n’amalayo ekitundu kye nga taleseewo kkubo era enkaayana z’amakubo nnyingi.
l Tetulina masomero ga Gavumenti aga pulayimale ne siniya, ebyobulamu nabyo bibulamu
No Comment