Jamir Mukulu ayagala emisango egimuvunaanibwa gigobwe

May 15, 2025

AGAMBIBWA okukulira abayeekera ba ADF, Jamir Mukulu ayagala kkooti egobe emisango egimuvunaanibwa ng’alumiriza nti yakomezebwawo mu bukyamu, abakuumaddembe baamutulugunya, era awakanya okuwozesebwa mu Uganda.

NewVision Reporter
@NewVision

AGAMBIBWA okukulira abayeekera ba ADF, Jamir Mukulu ayagala kkooti egobe emisango egimuvunaanibwa ng’alumiriza nti yakomezebwawo mu bukyamu, abakuumaddembe baamutulugunya, era awakanya okuwozesebwa mu Uganda.
Jamir Mukulu Arirabaki Kyagulanyi yakwatibwa mu Tanzania mu 2015 n’akomezebwawo mu Uganda era avunaanibwa n’abalala ku misango gy’obutujju, okubeera n’akakwate ku kabinja k’abatujju, obutemu, okugezaako okutta abantun n’emisango emirala. Ng’ayita mu bannamateeka be abaakulembeddwa omubaka, Medard Lubega Sseggona, Jamir Mukulu, Muhammad Matovu ne Umar Abdullah Mutuka baagaana okwanukula ku misango egyabaggulwako ne basaba kkooti esooke ewulire ensonga zaabwe. Jamir Mukulu agamba nti gavumenti ya Uganda teyalina lukusa lwonna okumukwata ne bamuzza kuno okuvunaanibwa ng’ate emisango gye bamulanga gyali gyamuvunaanibwa dda e Tanzania era kkooti erudda eyo n’eyisa ekiragiro obutaddamu kumuvunaana misango gyegimu awantu awalala wonna. Bwe yaleetebwa mu Uganda mu 2015, ate baamussaako emisango emirala, kino Mukulu ne banne bagamba nti kinkotana ne ssemateeka ng’ate n’emisango gye
babavunaana okuli obuyeekera n’obutujju tegiriimu mu kitabo kya “Penal Code” ekirambika amateeka, emisango n’ebibonerezo ebiweebwa ababeera bagizzizza.
Ensonga za Jamir Mukulu ne banne zaajunguluddwa ofi isi y’abawaabi wa gavumenti ne beegaana okutulugunya Mukulu ne banne.
Basabye kkooti egende mu maaso n’okuwulira emisango kubanga bano ensonga ze baleese zonna zijjudde obulimba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});