Bw'oyamba omwana azaaliddwa n'obuzibu ku bwongo okukula
May 15, 2025
ENNAKU zino tuwulira abazadde n’abakugu nga boogera ku bulwadde bw’obwongo obwa ‘Autism’ naddala mu baana. Obuzibu buno abaana bazaalibwa nabwo era ng’oluusi omuzadde ayinza okulwawo okukitegeera naddala singa si mwegendereza nnyo kulaba nneeyisa ya mwana we ku mitendera gy’okukula egy’enjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision
ENNAKU zino tuwulira abazadde n’abakugu nga boogera ku bulwadde bw’obwongo obwa ‘Autism’ naddala mu baana. Obuzibu buno abaana bazaalibwa nabwo era ng’oluusi omuzadde ayinza okulwawo okukitegeera naddala singa si mwegendereza nnyo kulaba nneeyisa ya mwana we ku mitendera gy’okukula egy’enjawulo.
Gorreti Nafuna, omutuuze w’e Mannyangwa-Gayaza yeeraliikirira bwe yalaba muzzukulu we Gabriel nga tawummula kimala, acamuukirira, okuwalampa ebintu buli kiseera ng’oluusi azira emmere ku myaka ena gyokka. Kyamutabula n’amutwala
mu ddwaaliro abasawo gye baakizuulira nti, yalina ekirwadde ekitawaanya enkula n’enkola y’obwongo ekiyitibwa ‘Autism’. “Nabuuza abasawo ebikwata
ku bulwadde buno ne bantegeeza nti, bukwata bwongo ne bubeera nga tebusobola kukula mu ngeri entuufu ekivaako omwana okukula akasoobo,” Nafuna bw’agamba.
Essomero erimu gye baamutwala baamugoba mu mwezi gumu nga bagamba nti, tebasobola mbeera ze, ate nga ne banne bamutuusaako ebisago olw’ekikula kye. “Wabula lumu nnalaba akalango ku BUKEDDE TV ak’essomero
erisomesa abaana abatawaanyizibwaekirwadde kino ekyampa essanyu kuba ku myaka ena gye yalina yali tasobola kwogera,” Nafuna bw’ajjukira.
Nafuna agamba nti, essomero lino lyawa omwana obulamu n’ebiseera eby’omu maaso kuba okuva lwe yatandika okusoma baakizuula ng’alina ekitone ky’okusiiga ebifaananyi.
Wabula balina okusoomoozebwa kw’okugula eby’okulya eby’enjawulo, bye yeetaaga okuyamba ku bwongo okukula obulungi ekiseera kyonna kuba waliwo lwe batabeera na
ssente.
Nafuna asaba gavumenti okuvaayoeyambeko mu mulimu gw’okulaba ng’abaana abatawaanyizibwa ekirwadde kino bafuna amasomero we bayinza okusomera ate n’okutendeka abasomesa abamanyi okubakwata.
N’abazadde mutwale abaana bano mu bakugu n’amasomero bayambibwe okusitula ebitone byabwe.
OBUBONERO KW’OYINZA OKULABIRA OMWANA ALINA OBUZIBU
Dr. Rebecca Akello, omukugu mu kujjanjaba n’okubudaabuda abaana n’abavubuka abatawaanyizibwa obulwadde buno, agamba nti, waliwo obubonero omuzadde bw’alina
okwegendereza ku mwana okusobola okuzuula bw’aba n’obuzibu ku bwongo.
Omwana afuna obuzibu mu mpuliziganya: Asobola okuba ng’awulira naye nga tayogera wabula ng’alina engeri gy’ategeeza ky’ayagala. Omulala ayinza okwogera wabula ng’enkozesa y’ebigambo ekyukamu olw’engeri gy’abeera abigattamu.
Batabulatabula ebintu ng’asobola okuba aliko ky’ayagala kirala n’akiyitamu ekirala. Essowaani ayinza okugiyita entebe.
Omwana akola ekintu kye kimung’akiddiηηana n’addala ng’azannya.
Omwana asobola okuba n’obuzibu nga tasobola kukutunula mu maaso ng’oliko ky’omugamba olw’okutya.
Omwana alina obulwadde buno tayagalira ddala bireekaana wadde
okumuwogganira. Abalala bw’omuwa emmere asooka kugiwunyako olw’obuzibu
bw’aba afunye ku mpulirizo z’omubiri gwe.
Wabula Dr. Akello agamba nti, obulwadde buno bweyolekera mu bubonero obw’enjawulo mu buli mwana n’awa abazadde amagezi okufaayo ku nneeyisa y’abaana baabwe, bayambibwe nga bukyali kuba ate waliwo obwolesebwaendwadde z’omutwe endala.
Akubiriza abazadde okuwa abaana emmere erimu ebirungo ebizimba obwongo busobole okukula obulungi.
Abaana abamu beerondalonda mu by’okulya wabula omuzadde olina okufuna engeri gyagitabulamu omwana okusobola okufuna buli kirungo.
OBUJJANJABI
Dr. Akello agamba nti, abaana bano basobolera ddala okuyambibwa wabula tebagaba ddagala okuggyako okukwataganya enneeyisa y’omwana
okutuusa ng’akyusizza, okugeza atasobola kwogera n’atandika okwongera
nga beeyambisa abakugu.
‘OBULWADDE BWA ‘AUTISM’ SI DDOGO’
Dr. Jolly Magulu, nga naye mukugu mu ndwadde z’obwongo mu ddwaaliro e Butabika, agamba nti, kirungi omwana atawaanyizibwa obulwadde bwa ‘autisim’ okutandika obujjanjabi amangu singa omuzadde abeera ategedde naddala nga tannasukka myaka
etaano, kuba gye yeeyongera okukula obubonero gye bukoma okubeera obw’amaanyi.
Bangi balowoza nti, obulwadde buno ddogo ne badda mu kweraguza
mu kifo ky’okunoonya obuyambi bw’abakugu basobole okuyamba n’okutaasaabaana baabwe nga bukyali.
Kizibu okumalawo obulwadde buno mu bantu kuba bukwata kubwongo era nga balina kusomesa bazadde ku ngeri gye balina okutendeka abaana ne bayiga kye balina okukola
kuba bangi balina ebitone singa obeera omuyigirizza bulungi.
EBIVAAKO OBULWADDE BUNO
Dr. Magulu agamba nti:
Omwana asobola okufuna obulwadde buno okuva ku bazadde
n’addala taata singa azaala ng’akuliridde
mu myaka nga 60.
Mu bamu butambulira mu musaayi, singa wabaawo eyabulina mu famire.
ddagala omukyala w’olubuto ly’amira naddala mu myezi esatu egisooka nalyo lisobola okuvaako omwana okufuna obulwadde buno.
Okweraliikirira oba okutulugunyizibwa mu bakyala ab’embuto nakyo kivaako ebirungo by’obutwa ebifulumizibwa mu mubiri okwetabula mu musaayi ekikosa omwana.
No Comment