asabye enzikiriza okukolera awamu okukulaakulanya ya Uganda

May 16, 2025

PASITA Patience Rwabwogo asabye wabeewo obumu mu nzikiriza ez’enjawulo mu Uganda nga y’empagi enkulu eneeyamba Uganda okuzzibwa obuggya n’okutuuka ku nkulaakulana ey’omuggundu.

NewVision Reporter
@NewVision

PASITA Patience Rwabwogo asabye wabeewo obumu mu nzikiriza ez’enjawulo mu Uganda nga y’empagi enkulu eneeyamba Uganda okuzzibwa obuggya n’okutuuka ku nkulaakulana ey’omuggundu.
Asabye abakulu mu nzikiriza ez’enjawulo okuzza ku bbali obutakkaanya mu ngeri gye bakolamu ebintu, wabula beegatte n’ekigendererwa eky’okubeera omumuli ogumulisiza
abakulembeze b’ebyobufuzi okutuusa Uganda awo Katonda we yandyagadde ebeere.
Yabyogedde wakati mu kwetegekera olukung’aana lw’enjiri oluyitibwa ‘Light
Up Uganda for Jesus’ oluzze lutegekebwa mu Uganda mu myaka esatu egiyise n’ekigendererwa eky’okubunyisa enjiri ya Kristo mu Uganda. Enkung’aana z’enjiri zino zigatta abakkiriza, okubateekamu entegeera ya Katonda ey’enjawulo n’essuubi eriruubirira okusitula okukkirira kwabwe n’okutegeera Katonda mu Uganda yonna  ’ensi
ezituliraanye.
Olukung’aana lw’enjiri luno olw’omwaka guno lwa kubeeramu babuulizi b’enjiri okuva mu nzikiriza ez’enjawulo omuli ne Bishop Labdonna Osborne okuva mu America, nga
lwakubeera ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo okuva nga May 19 okutuusa nga May 24, 2025.
Abakungu ab’okulwetabamu kuliko Pulezidenti Yoweri Museveni ng’ali wamu ne mukyala we era minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet K. Museveni n’abakungu abalala bangi. “Olukung’aana lwaffe lwa kutandika n’olusirika olw’enjawulo  olw’abasajja nga lunogera eddagala ensonga ezinyigiriza abasajja
omuli ez’ebyensimbi, okwetandikirawo emirimu n’okukulembera famire
zaabwe,’’ Mukyala Rwabwogo bwe yagambye. Ku lunaku olunaasembayo (olwa May 24, 2025) bayise abakulembeze eb’engeri zonna, omuli: ab’ennono, bannabyabufuzi, abasuubuzi n’abalala bonna okubabuulira enjiri, okubasabira n’okubalangirirako omukisa mu byonna bye bakola

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});