Abadde avuganya ku kifo ky’abakyala mu kulonda kwa NRm yeekandazze

May 16, 2025

WAABADDEWO okusika muguwa mu kulonda akulira olukiiko lw’abakyalaow’omuluka gwa Nakivubo 4 mu kibiina kya NRM, omu ku bavuganya bwe yeekandazze n’akuzira ng’agamba nti kwetabyemu abatali balonzi.

NewVision Reporter
@NewVision

WAABADDEWO okusika muguwa mu kulonda akulira olukiiko lw’abakyala
ow’omuluka gwa Nakivubo 4 mu kibiina kya NRM, omu ku bavuganya bwe yeekandazze n’akuzira ng’agamba nti kwetabyemu abatali balonzi.
Bino byabaddewo ku Lwokusatu, bammemba ba NRM abatuula ku nkiiko za
LC 1 bwe baakung’aanye okulonda ebifo ebitajjuzibwa okuli; eky’akulira olukiiko
lw’abakyala, ow’abavubuka, n’ow’ebyamawulire ku Muluka  gwa Nakivubo 4.
Oluvannyuma lw’okukung’aana, eyabadde akubiriza okulonda, Yusuf Kalanze nga ye muwandiisi ku ggombolola yategeezezza bammemba nti ku bifo ebisinga abavuganya bakkaanyizza ne baayo amannya kyokka ne wasigalawo ebifo ebyabadde byetaaga
okulonda.
Baasoose kusoma mannya g’abo abalina okulonda nga baasookedde ku bw’ebyamawulire wabula abaabadde bavuganya bakkaanyiza ekifo ne bakirekera
Robert Kizito. Bazzeeko eky’abavubuka ne balonda Faisal Lukwago naye eyalonze
olukiiko lwe.
Bwe bazze ku ky’akulira abakyala ow’omuluka, embiranye yabadde wakati wa
Cissy Nakimuli ne Margaret abatanzi ava ku City House.
Kalanzi eyabadde akubiriza okulonda yasomye amannya g’abo abalina okulonda wabula kalumanywera yavu de ku bawagizi ba Nabatanzi okutabuka nga balumiriza nti waliwo abatalina kulonda abasimbye mu mugongo gwa Nakimuli.
Embeera yatabuse, abawagizi b’enjuyi zombi ne batandika okukaayana ekyawalirizza abaserikale okubakkakkanya ne kisalibwawo okulonda kuddibwemu nga basoma
buto amannya g’abo abalina okulonda. Kino oludda lwa Nabatanzi lwakiwaknyizza ne bagamba nti ensonga bazitutte ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo nga baagala okulonda
gye kuba kutegekebwa. Wabula wadde abawagizi ba Nabatanzi beekandazze okulonda kwagenze mu maaso Nakimuli n’afuna obululu 34 ate owa Nabatanzi yabaddewo omu

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});