Kitatta eyali owa bodaboda 2010 bamukubye akalulu naye ne yeewuunya!!

May 19, 2025

SSENTEBE wa NRM e Lubaga, Hajji Abdallah Kitatta eyali owa bodaboda 2010 akubiddwa akalulu mu kulonda kw’ekibiina, ku kifo kya Ssentebe wa NRM ku ggombolola ya Lubaga South A n'awotookerera!

NewVision Reporter
@NewVision

SSENTEBE wa NRM e Lubaga, Hajji Abdallah Kitatta eyali owa bodaboda 2010 akubiddwa akalulu mu kulonda kw’ekibiina, ku kifo kya Ssentebe wa NRM ku ggombolola ya Lubaga South A n'awotookerera!

Jamil Kabugo Eyamezze Kitatta.

Jamil Kabugo Eyamezze Kitatta.

Kitatta n'abawagizi baabadde bakyawotookeredde, ng'eno munne bwe bali ku mbiranye Ivan Ssemakula Kamuntu eyakazibwako erya ‘Majambere’ abuukira waggulu olw’okuwuuta akalulu ku mutendera gw'omuluka n'atangaaza emikisa gye egy'okusiguukulula Kitatta ku kifo kya Ssentebe wa NRM mu Lubaga.

Okusinziira ku mateeka g’ekibiina kya NRM, Kitatta emikisa gye okuwangula Obwassentebe bwa Lubaga gisannyaladde, olw’abakulembeze abaalondebwa wansi okukola emikago omuli ogukulemberwa Majambere okweronda.

Hajji Kitatta Eyameggeddwa.

Hajji Kitatta Eyameggeddwa.

Kitatta abadde yeesimbyewo ku Bwassentebe bwa ggombolola y'e Lubaga South ‘A’ ekolebwa emiruka 4 okuli; Mutundwe, Kabowa, Najja I ne II. 

Ne Jamil Kabugo, abadde Ssentebe w'eggombolola eno, ng'ono wa kiwayi kya ‘Majambere’ ne sipiika wa Lubaga Musa Mbaziira.

Kitatta afunye obululu 40, Kabugo n’afuna obululu 78, okulonda kubadde ku ssomero lya Kabowa C/U e Lubaga.

Sipiika wa Lubaga Musa Mbaziira eyeegwanyiza eky’omubaka wa Palamenti owa Lubaga South nga naye ali ku kiwayi kya Majambere, yayiseemu ku buwanika bw’eggombolola eno nga tavuganyiziddwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});