Omusumba Jjumba asiimye emirimu gy’eyali mukyala w’omugagga Ssewankambo

May 19, 2025

OMUSUMBA w’Essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba asiimye emirimu egyakolebwa omugenzi Teddy Josephine Nakakeeto Ssewankambo.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUSUMBA w’Essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba asiimye emirimu egyakolebwa omugenzi Teddy Josephine Nakakeeto Ssewankambo. Ono yali mukyala w’omugagga
Emmanuel Ssewankambo, nnannyini Nabisere Hotel ne E-Villas e Kaliisizo mu Kyotera.
Omusumba Jjumba yabadde akulembeddemu Mmisa y’okusabira omugenzi n’okusabira omusika we Jane Francis Namata mu kwabya olumbe olwabadde mu maka ge ku
kyalo Kamaggwa Kaliisizo. Nakakeeto Ssewankambo yafa omwaka oguwedde era Omusumba Jjumba yamutendereza nti, yali omukozi ateebalira, omukakaalukanyi, ayagaliza ekitundu enkulaakulana n’asaba abaliwo okumuyigirako. Yasaasidde bba Emmanuel Ssewankambo  ne bamulekwa olw’okumufiirwa kyokka n’abasaba okwekwasa Katonda okwongera okubagumya  n’okumusabiranga. Era yasiimye Bannabuddu olw’okwongera kaweefube mu kulima emmwaanyi.

  Mikwano gya Emmanuel Ssewankambo nga bakulembeddwa omukuhhaanya w’olupapula lwa BUKEDDE, Micheal Mukasa Ssebbowa baasiimye Omusumba Jjumba ekitambiro ky’Emmisa kye yabawadde era ne basiima ’omugagga Ssewankamboolw’okutegekera mukyala we omukolo ogw’ekitiibwa. Pookino eyawummula, Vincent Ssebbowa Mayiga yajjukiza abaabaddewo obukulu bw’omusika n’obuvunaanyizibwa bwe n’asaba eyasikidde Teddy Nakakeeto okubutwala mu maaso. Yayogedde ku mugenzing’ajja okujjukirwanga  olw’obukozi bwe n’okwagaliza ekitundu enkulaakulana.
Abaana nga baakulembeddwaamu Adrian Ssewankambo baatenderezza nnyabwe
olw’omukwano gwe yabalaga ng’akyali ku nsi ne beeyama okutambulira ku kkubo lye, yaleka abalambise.
Ye Mukulu wa Ssewankambo, Yinginiya Pius Mugerwa Mugalaasi yafalaasidde omusika ku buvunaanyizibwa obumuweereddwa okulambika abaana era ono yasesezza abantu bwe yagambye nti, singa kisoboka, omusika yandisigalidde ddala singa nnannyinimu
aba asiimye! Ssewankambo, yayogedde gye nvudde we n’omugenzi Teddy Josephine Nakakeeto Ssewankambo gwe yatenderezza nti, yamuyamba okumusitula okufuuka ekyo kyali kati, omukuzaalira abaana ate n’abagunjula bulungi. Era yasiimye n’abatuuze b’ekitundu olw’okubaagala n’okubagumyanga okuva omwagalwa we lwe yafa. Yasiimye Omusumba Jjumba olw’ekitambiro ky’Emmisa ne yeeyama okuwa abaana be omukwano ogujjudde, baleme kujulirira nnyabwe omugenzi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});