Abaalumba ppaaka y’e Mpereerwe basindikiddwa Luzira

May 19, 2025

ABAMU ku bagambibwa okulumba ppaaka ya takisi e Mpereerwe nga bakozesaebissi omuli ejjambiya, emiggo n’obutayimbwa ne balumya baddereeva n’okubba ssente, bavunaaniddwa ne basindikibwa k imanda e Luzira.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAMU ku bagambibwa okulumba ppaaka ya takisi e Mpereerwe nga bakozesa
ebissi omuli ejjambiya, emiggo n’obutayimbwa ne balumya baddereeva n’okubba ssente, bavunaaniddwa ne basindikibwa k imanda e Luzira.
Baakakwatako babiri
okuli; Ali Galiwango ne Hamidu Mugoya era baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku kkooti y’e Kanyanya ne basomerwa omusango gw’okulumya baddereeva n’okubba ssente.
Omulamuzi yategeezezza  nti, kkooti mwe baabadde, terina buyinza bubawozesa
wadde okubawa ebibonerezo era baakubasomera emisango okutuusa lwe banaasindikibwa mu kkooti enkulu. Yabasindise ku alimanda okutuusa nga
June 11, 2025 lwe banazzibwa mu kkooti y’e Kanyanya.
Bano kigambibwa nti, nga April 14, 2025, baalumba ppaaka ya takisi e Mpereerwe
nga bakozesa ebissi ne babba emitwalo 7 okuva ku Gerald Mukuumaddembe ne bamutuusaako n’ebisago. Kigambibwa nti, ekibinja kyali kinene era abalala bakyayiggibwa.
KU PPAAKA
Omusango gwabadde gugenda mu maaso nga baddereeva ku ppaaka
y’e Mpereerwe bajaganya olw’engeri gye basobodde okutuusa abamu ku be
balumiriza okubalumba mu kkooti.
Omu ku bakulira  eby’emirimu mu ppaaka eno, Diriisa Ssendawula yategeezezza nti, baali bkola bulungi emirimu gyabwe nga tebamanyi nti,
waliwo ababatambulirako.
Nti naye okuva lwe baakitegeera,  ppaaka bagikuuma era abasaabaze babatambuze
bulungi. Yagambye nti, obutakkaanya bwaliwo mu kifo kye baasooka okukolamu ppaaka era ne balemagana ne nnannyini kyo ne bakisengukamu ne bagenda we bali ng’ekibinja
ky’abavubuka abalin  ebissi we baabasanga.
Baddereeva baawaze nti, bagenda kukozesa amateeka okwahhanga yenna ataataaganya emirimu gyabwe

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});