Engeri gy’ogatta ensigo z’ebirime okufuna ekisinga
May 19, 2025
Engeri gy’ogatta ensigo z’ebirime okufuna ekisinga

NewVision Reporter
@NewVision
ABALIMI abasinga ebirime byabwe bitawaanyizibwa endwadde ez’enjawulo olw’obutamanya bukodyo obuyinza okubayambako okuziyiza ekizibu ekyo basobole okufuna mu bye balima.
Gladys Ahumuza, omutuuze mu Kimwaanyi zzooni e Nakwero, agamba nti, agatta ebika by’ebirime eby’enjawulo okuli; ennyaanya, obutunda greenpepper ne sweet pepper mu nkola ya ‘grafting’ okufuna ebibala eby’omutindo. Ahumuza agamba nti, yayagala obulimi okuva obuto era yabusomerera ku yunivasite era yakolako
n’ekitongole ekimu eky’ebyobulimi okumala emyaka mwenda.
Yava ku mulimu mu 2019 n’atandika okulima ebibye mu 2022 ku ttaka lye baali baagula eryali ku bugazi bwa 80 ku 100 nga kwe kwali n’amaka gaabwe.
Mu kutandika ennimiro ye teyalina ssente, wabula yalina magezi gokka
ag’okulima ge yali afunye okuva ku mulimu gye yali, ensigo entono ez’ennyaanya, enkoko ennansi era bye yatandikirako okukola mu nnimiro ye entono nga ne bba bw’amuwagira.
OKULIMA EBIRIME EBY’OKUGATTA
Ahumuza agamba nti, baatandika na kutegeka ttaka ery’okusimbamu ensigo zino.
Lino balyetabulira bwe baafuna ebitoogo ebivunze bye batabulamu ‘Combust’; ono bamuggya mu kkolero erikola ssukaali, ne bagattamu kalimbwe w’enkoko.
Oluvannyuma bafumba ettaka lino okutta obuwuka bwonna obuyinza okuvaako endwadde ezitta ensigo.
Ettaka lino baliteeka mu ttule ze bamaze okuteekateeka obulungi ne asimbamu ensigo zino ze batwala mu nnassale bbeedi.
BWE BAGATTA EBIRIME
Ahumuza agamba nti, baga-tta ebirime okuli; ennyaanya, green pepper ne sweetpepper
n’ekigendererwa eky’okubitangira okulumbibwa endwadde ez’enjawulo omuli kiwotoka n’endwadde endala zonna ezireetebw obuwuka obw’omu ttaka
(soil bacterial wilt).
Alina kkampuni z’akolagana nazo ezimuguza ensigo z’asimba. Bwe ziba nnyaanya oba greenpepper, ku nyaanya afunakoekitundu ekya waggulu ekiyitibw sayone’. Akozesa ekika kya ‘Anger F1’ okuva e Namulonge abaayiiya eky’okugatta ebirime eby’enjawulo
n’ensigo endala nga z’asimba era kw’aggya ekitundu ekya wansi ekiyitibwa ‘root stock’
Si buli kika kya nnyaanya nti, kisobola okusimbibwa okufunako ekitundu ekya wansi ekirungi, kubanga si buli kimu nti, kirina obusobozi okulwanyisa endwadde ezirumba ennyaanya n’okuwanirira ekitundu ekya waggulu lw’ensonga nti, kibeera kizitowa.
Wakati wa wiiki ssatu n’ennya endokwa eba evuddeyo nga ereeseeko
bukoola obutonotono, era zino bazifuuyira nga bakozesa eddagala ery’obutonde lye beekolera ku ffaamu okwewala endwadde eziyinza okulumba endokwa zino
n’okuteekamu ebigimusa.
Bwe bibeera mu ‘greenhouse’, okufuuyira kubeera kutono kubanga eyo obuwuka n’endwadde tezibirumba nnyo, era osobola okufuuyira emirundi ebiri mu mwezi.
Bwe bukula okumala wiiki ezo ennya, basala ekitundu ekya waggulu eky’ennyaanya ne basala ne ku kika ekirala okubeera ekyawansi oluvannyuma ne bazigatta.
Bwe zigattibwa ziteekebwa mu kifo eky’enjawulo ekitatuukibwako
musana, nga tewali mpewo eyingira wadde okufuluma okumala ennaku 5 ku 7 okusobola okukwata obulungi.
Oluvannyuma ng’ekitundu ekya waggulu ne wansi byegasse bulungi
bitwalibwa mu nnimiro ennene okukulira eyo era ettaka lye banaasimbamu nalyo baliteekateeka bulungi ne balitabula n’obusa obukola ekigimusa.
Mu nnimiro bimalayo emyezi ebiri n’ekitundu erm basobola okukungula
okumala emyezi mukaaga n’okusingawo kubanga babirabirira bulungi, okugeza;
bateekamu obusa, okusiba ennyaanya ne green pepper ku
buwuzi ne ziranda bulungi n’obutagwaku ttaka (staking)
ekibulemesa okubala.
BY’AFUNYE MU NNIMA ENO
Ahumuza agamba nti:l Ebirime by’agatta mu nkola eno tebirumbibwa ndwadde ate nga n’amakungula gaba malungi.
l Yatandikawo bizinensi eyiye emuwa ku ssente.
l Takyagula nva ndiirwa mu maka ge ate nga tezifuuyirwa ddagala
lya butwa.
l Takyasabiriza bba ssente kuba asobola okwetuusaako by’ayagala. l Asobodde okuyimirizaawo abantu ab’enjawulo n’okukyusa obulamu bwabwe omuli abakozi b’akozesa.
EBISOOMOOZA
l Akyetaaga kapito okugaziya ffaamu ye.
l Akatale k’ebirime bye kakyali katono, wabula akozesa emikutu gye ku mutimbagano okumanyisa
abantu. l Entambula nayo ekyamutawaanya.
No Comment