Baagala obuwumbi 15 okutegeka okulonda okw'emirembe omwaka ogujja

May 20, 2025

EKIBIINA ekigatta ebibiina by’obufuzi mu ggwanga ekya National Consultative Forum kyetaaga obuwumbi 15 okukola enteekateeka z’okubeera n’akalulu ak’emirembe aka 2026.

NewVision Reporter
@NewVision

EKIBIINA ekigatta ebibiina by’obufuzi mu ggwanga ekya National Consultative Forum kyetaaga obuwumbi 15 okukola enteekateeka z’okubeera n’akalulu ak’emirembe aka 2026.

Ssentebe w’ekibiina kino, Godfrey Kiwanda Ssuubi ne banne okuva mu bibiina by’obufuzi 26, eggulo baasisinkanye sipiika wa palamenti, Anita Among okwogera ku nsonga y’emirimu gye bagenda okukola mu kulonda okubindabinda nga muno mwe muli n’ebbago lya Peace Pledge mwe bagenda okulung’amiza bannansi okubeera n’akalulu ak’emirembe.

Kiwanda Ng'akwasa Sipiika Obweyamo Bwabwe.

Kiwanda Ng'akwasa Sipiika Obweyamo Bwabwe.

Kiwanda yagambye nti okuva ekibiina lwe baakitondawo mu 2010, baafunako obukadde 500 mu myaka ebiri gyokka.

Ategeezezza nti ejaddirira bazzenga baweebwa obukadde 450 wabula nga ssente zino ntono ate nga mu biseera bino eby’okulonda balina emirimu nga okulungamya engeri abantu gye bateekeddwa okweyisamu (Code of conduct).

 

Kiwanda era agambye nti ssente zino zaakubayamba okubuulirira bannabyabufuzi ku ngeri y’okweyisaamu, amateeka agabafuga ge balina okumanya , okutambuza obulango okwewala okubeera n’abakulembezze abasiiwuufu b’empisa naddala abakola ebisaanidde nga bawanguddwa.

Sipiika wa palamenti wano w’asinzidde n’akalaatira bannabyabufuzi okukomya okwogerera eggwanga amafuukule okurirabisa obubi mu nsi endala n’agamba nti Uganda yaffe ffenna era nga tulina okutunda mu bulungi si bantu ssekinnoomu kwegwanyiza kuyisaawo byabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});