KCCA erabudde bannannyini bizimbe abata amazzi ga kazambi ne gakulukutira ku nguudo

Jun 02, 2025

AMYUKA akulira ekitongole kya KCCA, Benon Kigenyi alagidde abali mu kuzimba ekizimbe ky’omugagga Nabukeera okubambula ekibaati kye baakuba mu luguudo kisobozese mukoka okutambula obulungi.

By Eria Luyimbazi
Journalist @New Vision

AMYUKA akulira ekitongole kya KCCA, Benon Kigenyi alagidde abali mu kuzimba ekizimbe ky’omugagga Nabukeera okubambula ekibaati kye baakuba mu luguudo kisobozese mukoka okutambula obulungi.

Kigenyi Ng'asimba Omuti Ku Namirembe Road.1212

Kigenyi Ng'asimba Omuti Ku Namirembe Road.1212

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga, Kigenyi bwe yabadde alambula ekibuga Kampala, mu kaweefube w’okutumbula obuyonjo n’agenda ku Nabugabo awali ekizimbe okuli 888 Hotel nga waliwo ekizimbe ekipya gye basitula.

Ono yasanze abazimbi bakubye ekibaati mu luguudo n’abalagira bakibambululewo ku bazibye omufulejje okutwala amazzi  n’okuleetawo obucaafu.

Kigenyi eyabadde n’akulira ebyobulamu mu KCCA, Dr. Sarah Zalwango yasoose n’abuuza bakalabaalaba ku kizimbe kino eyabakkirizza okukuba ekibaati mu luguudo nga tebalulina kwe kulagira bakibambululewo amazzi gasobole okutambula.

Kigenyi Ne Dr. Zalwango Nga Bali Ku Kinnya Ekitali Kibikkeko Omuli Amazzi Amacaafu.

Kigenyi Ne Dr. Zalwango Nga Bali Ku Kinnya Ekitali Kibikkeko Omuli Amazzi Amacaafu.

Mu ngeri y’emu, Kigenyi yalabudde bannannyini bizimbe abata amazzi okuva mu bizimbe byabwe ne gagukulutira ku nguudo nti baakutanzibwa ssente kuba babeera boolesezza obulagajjavu ekivaako enguudo okwonooneka.

Yagambye nti ekibuga Kampala kirina okubeera ekiyonjo ng’abantu tebamala gayiwa mazzi we basanze ne Kasasiro era n'agamba nti buli dduuka lirina okubaako we bamukunanyiza abamuyoola we bamusanga ne bamutwala.

Kigenyi bwe yatuuse ku Luguudo lwa Nakivubo Road abasuubuzi abakolerako bamuloopedde loole ezisusse okubasibako obucaafu n’ekivundi olw'abazitikka obutabeerwako we beeyambira.

 

Fauzi Kayondo omu ku bakolera mu kitundu kino yagambye nti abatikka eby’amaguzi ku loole zino tebayina we beeyambira ng’abamu bafuka wansi waazo nga n’abalala beeyambira mu buveera ekivaako ekivundu n’asaba wabeewo ekikolebwa.

Kigenyi yalagidde abakulira eby’obulamu okutuukirira bonna abalina mmotoka ezisimba ku nguudo okubawa amabaluwa agabalabula nga bwe kinaagenda mu maaso bakwatibwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});