Omukazi Nansubuga atundidde bba Mubiru mu nnyumba gy'alumiriza nti ye yagigula era ye yamuwasa
Jun 02, 2025
Omukazi akalambidde nti ye yawasa omusajja n'amutwala mu maka era nti taata w'abaana bwe yali ajja mu ddya yaleeta ssaati ze na mpale byokka talina kirala kye yaleeta.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Omukazi akalambidde nti ye yawasa omusajja n'amutwala mu maka era nti taata w'abaana bwe yali ajja mu ddya yaleeta ssaati ze na mpale byokka talina kirala kye yaleeta.
Bino okuvaayo omusajja yaloopye mu b'obuyinza nga maama w'abaana bwe yamutundidde mu nnyumba , ssente zonna n'azirya era olwo omukazi n'addukira ku kibuga n'afuna eddya eppya.
Nansubuga Ne Bba Mubiru Nga Batudde Mu Lukiiko.
Omukazi awadde ensonga nti ye yeegulira poloti eyo ne yeewasiza omusajja oyo kati emyaka gikunukkiriza mu 30 era ne mu kuzimba ennyumba musajja yasomba musenyu.
Omusajja agamba nti omukwano gwamuziba amaaso kubanga ye yapakasa ssente n'aziwa omukazi anoonye poloti.
Mastullah Nansubuga ne bba Henry Mubiru Kizza be baatabuse beerangira obubbi, nga omukazi agamba nti bba yatunda ebintu by'omu nju so nga omwami alumiriza omukazi okubba eggaali ye ne ttivvi.
Bano batuuze ku kyalo Kyampisi mu ggombolola y'e Kayunga mu disitulikiti y'e Kayunga.
Omukazi agamba nti n'ebintu by'omu nju ebisinga ye yabyegulira era eby'omusajja bye yaleeta bibalirwa ku ngalo.
Omusajja akalambidde nti tafuluma nnyumba nga mulamu waakiri bafulumya omulambo.
Ennyumba Abafumbo Gye Bakaayanira Esangibwa E Kyampisi.
Mubiru alumiriza nti omukazi yafumbirwa mu ddya eddala sso nga ne Nansubuga akalambira nti asula mu baana be nga bamujjanjaba obulwadde bw'omutima.
Nansubuga agamba nti Mubiru yava mu maka n'agenda awasa omukazi omulala kati bwe yamunaabira mu maaso kwe kudda mu maka ge yasuulirira era nga okuyingira yamenya luggi.
Wadde nga Nansubuga anenya bba Mubiru okutunda ebintu by'omu nju ne Mubiru amulumirizza okutunda ennyumba era nga omukazi ennyumba azze agitunda mu biwagu nga yasookera ku kaabuyonjo okutunda.
Collins Kafeero Ng'atuuzizza Abafumbo E Kyampisi.
Mubiru yeegaanyi eky'okuba nti ye yafumbirwa n'agamba nti omukazi yamunona mu butongole era abakadde abazaala omuwala ebirabo byabwe byonna baabifuna. Abatuuze bawabudde abafumbo bano nti ennyumba esigale kubanga balina abaana.
Kafeero agambye nti ennyumba eno ya bantu babiri Nansubuga ne Mubiru era n'alagira Nansubuga nti be yaguza ennyumba abaddize ssente kubanga ensonga zigenda mu kooti ebataawulule.
Kafeero asabye abakyala nti nabo bagabire ku baami baabwe eby'obugagga nga nabo abakazi bwe baagala babbaabwe.
No Comment