Eyayiseemu okukiikirira abavubuka ba Lubaga mu NRM acacanca
Jun 11, 2025
NGA Bannakibiina kya NRM ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okwereega ebikya nga bavuganya okukwata bendera y’ekibiina kino mu kulonda kw’omwaka ogujja, abo abaayiseemu ku bifo eby’enjawulo bali mu kucacanca wamu n’okubinuka amasejjere nga bagamba nti ‘olutalo’ terubadde lwangu.
By Musasi waffe
Journalist @New Vision
NGA Bannakibiina kya NRM ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okwereega ebikya nga bavuganya okukwata bendera y’ekibiina kino mu kulonda kw’omwaka ogujja, abo abaayiseemu ku bifo eby’enjawulo bali mu kucacanca wamu n’okubinuka amasejjere nga bagamba nti ‘olutalo’ terubadde lwangu.
Abalala baasaze n’ebisolo okuli ente, embuzi, endiga n’ebirala nga beekulisa olwokaano lwe baayiseemu olutabadde lwangu n’akamu.
Omu ku baajaganyizza era nga yasaze n’embuzi ye Shafick Mbambaali eyalondeddwa nga Ssentebe w’abavubuka ba NRM Youth League mu ggombolola ye Lubaga South B era ng’akabaga akamuyozayoza kaabadde ku kyalo kw’azaalwa ekya Ndeeba Central Zone mu munisipaali y’e Lubaga.
Ate ye Betty Nabulime amanyiddwa nga Maaso ga Museveni yasabye Bannakibiina bonna abaawangudde n’abaawanguddwa mu kamyufu okusigala nga bali wamu basobole okutwala ekibiina kyabwe mu maaso okusinga okukulembeza ensonga zaabwe ng’abantu ekintu ekisobola okuzza ekibiina emabega
No Comment