Omukazi abadde ogobwa bba afunvubidde, ongoba ndage wa ng'omaze okunkaddiya
Jun 17, 2025
Maama atabuse bw'atuuse awaka n'asanga nga bba yapakidde engoye ze mu kaveera n'anoba, maama alayidde nti kikafuuwe omusajja ono okumusuulawo aleke nga amukaddiyizza.
By Saul Wokulira
Journalist @New Vision
Maama atabuse bw'atuuse awaka n'asanga nga bba yapakidde engoye ze mu kaveera n'anoba, maama alayidde nti kikafuuwe omusajja ono okumusuulawo aleke nga amukaddiyizza.
Omukazi agenze ku ofiisi y'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu e Kayunga ekulirwa Collins Kafeero n'aloopa nga agamba nti tayinza kuleka musajja amukaddiyizza nga kati yenna akanduse, era ayagala ab'amateeka bakalire mu musajja addeyo mu maka.
Cissy Nantege 48 y'atabuse olwa bba Kato David 55, okusibamu ebibye n'anoba era nga bano bamaze emyaka 30 mu bufumbo ne bazaala abaana babiri.
Nantege ewa Kafeero awerekeddwa mutabani we Migadde Abdu era ono naye obwedda awera awera obutaganya kiyaabwe okumala gasuulawo nyabwe kubanga ku myaka gy'aliko ssikyangu kufuna musajja anaamuwasa.

Kafeero eyatuuzizza abafumbo
Abafumbo bano balina amaka e Kisawo mu Kayunga mwe baasookera Kato geyazimba ku ttaka ly'ekika wabula oluvanyuma Nantege bweyagaba omugabo gwe ewa kitaawe yagutunda ne bagatta ssente ne bb ne bazimba enyumba endala endala e Mukono gyebabadde babeera ekiseera ekinene.
Kafeero ayise Kato n'ajja era n'abatuuza okubabuulirira ku ntambuza y'obufumbo.
Kato agamba nti ekyamunobezza Nantege aliko abasajja b'apepeya nabo nga agenze okusuubula engoye era nga lweyasibye emigugu waliwo omukazi yalwayo nnyo ate ne wabaawo omusajja eyakubira Kato essimu ne yewana nti y'abadde ne Nantege era ensonga Kato yazitwala ku poliisi e Kayunga.
Nantege agambye nti bba amuwayiriza era nti ye yagumira buli kimu nga n'abakazi abapya Kato baawasa okuzza, Nantege Nantege y'abavulira engoye.
Kato agambye nti tajja kusitula migugu kugyeddizaayo wabula Nantege agende mu nyumba yabwe ey'e Kisawo mu Kayunga asitule emigugu agizze e Mukono awo Kato naye agoberere.
Kafeero abuuliridde abafumbo n'asaba Kato ave ku kuwuliriza eng'ambo atebenkere ne mukazi we.
Kafeero ajjukizza Kato nti ssinga ensonga zeeyongerayo mu kooti ne kizuulibwa nga omusiguze taliiyo ensonga zisobola zisobola okwekyusiza Kato ate n'anyigirizibwa n'abalagira okudda mu bbanga lya wiiki emu nga buli omu amaze okwerowooza eyasobya yetondere gweyasobya.
Related Articles
No Comment