Acram ne Kluthum ani yasala munne?

Jun 18, 2025

OBUFUMBO bwa Dr. Kluthum Nabunnya Muzaata ne nkubakyeyo Ying. AcramGumisiriza Oweeriiso, obumaze emyaka esatu abamu aabwogerako ng’obutaali bwakuwangaala.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

OBUFUMBO bwa Dr. Kluthum Nabunnya Muzaata ne nkubakyeyo Ying. Acram
Gumisiriza Oweeriiso, obumaze emyaka esatu abamu aabwogerako ng’obutaali bwa
kuwangaala.
Ababiri bano baawoowebwa mu muzikiti gwa Kampalamukadde, oluvannyuma ne basembeza abagenyi baabwe mu wooteeri ya Mestil e Nsambya. Ekimu ku byasooka okukanga abagenyi abeetaba ku mbaga, kwe kuba nga buli omu emmere
 yagyesasulira ku 100,000/- essowaani, era abaali bazze nga tebeetegese tebaakomba ku
kyakulya.
Ng’embaga tennabaawo, Kluthumyasooka kwanjula bba mu maka ga bazadde be, e Kyanja era ku mukolo ogwo yamutonera n’emmotoka n’ebirabo
ebirala. Emmotoka eyamutonerwa era ye yavuga n’abagole
ku mbaga yaabwe.

KU BOMBI ANI YASALA MUNNE?
Dr. Kluthum, mukazi muyivu era alina ne diguli eyookusatu nga yagifunira mu yunivasite e Makerere. Mu kiseera kino dayirekita w’ebyenjigiriza mu KCCA.
Ng’oggyeeko ekyo, alina essomero lya Anwar Primary School e Wakiso,  ssaako ekibiina ekidduukirira abakyala n’abaana abawala. Acram kigambibwa yinginiya naye obukugu bwe tewali abukakasa wadde gye yasomera.
E South Africa gye yali abeera we yakwataganira ne Kluthum, ababeerayo tebakakasa wa gye yakoleranga bwayinginiya. Mu kiseera kino ali mu Amerika gye yagenda ne Kluthum, wabula ye (Acram) n‘alemerayo.
Mu kiwandiiko nnamutaayiika Kluthum kye yafulumizza ng’alaga okunyolwa olw’okusalawo okwawukana ne Acram, yategeezezza nti, yalabirawo obubonero
obulaga ebizibu mu mukwano gwabwe, wadde nga yasalawo
okukiwaamu obudde alabe oba nga binaatereera, okutuusa bwe yeefumiitirizza n’asalawo bakite mu mirembe.
Abali okumpi n’abafumbo bano bategeeza nti, oluvannyuma lw’okufumbiriganwa, Kluthum yaddayo mu maka ga Sheikh Muzaata e Kawempe gye yasulanga olwo ate Acram ng’asula mu bitundu by’e Kyanja, wadde nga baalaga nti, baalina ennyumba ya
kalina gye baali bazimba.
Omwaka oguwedde, waliw omuwala eyavaayo n’aloopa Acram ku poliisi e Katwe
ng’amuvunaana okumulonda ekkubo n’amutwala mu kazigo ku  lw’e Salaama gye yali asula kyokka n’agaana okumusasula.
Bino we byabeererawo nga Kluthum ali mitala w’amayanja wabula, bwe yakomawo yakola kinene okununula bba era n’ategeeza nga bwe baali bamukonjera nga
baagala kumuggyamu ssente.
Abafumbo bano kigambibwa nti, baazaala bbebi naye ensonga eno era teyalinnambulukufu kubanga n’omwana ayogerwako teyalabwako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});