ENTEEKATEEKA z’okuziika abafumbo David Mutaaga ne mukazi Deborah bikyakalubye oluvannyuma lw’abaana baabwe ababiri bokka be bazaala, okuyimiriza okujja mu ggwanga nga batya nti omutemu eyatta bakadde baabwe, nabo bayinza okubatusaako obulabe.
Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, Isabel Najitta Mutaaga ne mwannyina Mark Ernest Kabenge Mutaaga, baayogerako eri abakungubazi abaali beetabye mu kusabira emyooyo gy’abagenzi ku luttikko ya All Saints e Nakasero, nga bayita ku mu nkola ya ‘zuumu’ ku yintanenti.
Baatendereza okwagala n’okufaayo bakadde baabwe kwe baabalaga okuviira ddala mu buto bwabwe, okutuusa omutemu lwe yabajje mu bulamu bw’ensi eno.
Okwogera mu kusabira emyayo gy'abagenzi abaatemulirwa e Nakiwogo
Omu ku banoonyereza ku ttemu lino, yategeezezza nti baafunye ekiragiro okuva eri abaana b’abagenzi nga babalagira ebisumuluzo by’ennyumba mwe battira bazadde baabwe, babikwase bannamateeka, be baawadde obuyinza okusigala nga baddukanya emmaali ya bazadde baabwe so si waluganda yenna.
Bino webijjidde nga Poliisi enoonyereza ku mutemu agambibwa okuba n’akakwate ku ffamire z’abagenzi,
Kino kyaddirira omu ku baali bayamba ku bagenzi ewaka okutegeeza Poliisi nti Deborah bwe yabakubira essimu nga babalumbye, baawulira omutemu ng’amugamba nti, “Nzize kukutta wadde weekubya obusimu, mmwe muluwooza mmwe mwekka abazaala abaana era nti mmwe mwekka abalina okubeera obulungi ffe tetwazaalibwa?”
Kigambibwa nti siteetimenti z’abano, zezimu ku ziviiriddeko abaana b’omugenzi okugaana okukomawo mu Uganda, okwetaba mu kuziika wadde ng’abamu ku baffamire bakyabeegayirira bakomewo baziike.
Ensonda zaategeezezza Bukedde nti, abaana baasuubizza okujja okuziika singa Poliisi eneeba emaze okukwata abatemu n’okuboogeza ensonga eyabasizza bakadde baabwe mu ngeri ejjudde ettima.
Kino kyayongedde okuleetawo ebibuuzo n’okwoleka emiwaatwa egiriwo ku nkolagana ebaddewo wakati w’abagenzi n’abamu ku ba ffamire zaabwe.
Mu kusaba okwakulembeddwamu Rev. Canon Dokita Rebecca Nyegenye, ayabasabye okwekwata Katonda kubanga ye yekka atayiwa era n’abasaba obutawoolera abo abaabattidde bazadde baabwe.
Abakungubai nga bali mukusabira emyoyo gy'abagenzi
Mwannyina wa Kabaka Lubuga Agnes Nabaloga, akulira naye yeetabye mu kusabira emyooyo gy’abagenzi.
Ng’ayita mu ssentebe w’ekibiina kya Bumu Art Gallery, James Kyazze, yategeezezza nti David Mutaaga, abadde omu ku bammemba baabwe, era nga mujjumbize nnyo.
Yagambye nti bagenda ku musaalirwa nnyo olw’amagezi g’abadde abawa n’engeri gy’abadde akwatamu obudde buli lwe baba bagenda okusisinkana.
Dr. Edward Kayondo, ne Ssansa Mugenyi, eyakiikiridde ssentebe w’abaasomerako mu masomero ga Budo Junior ne Kings College, Farouk Ssewankambo yategeezezza nti tebaakoma kusoma na mugenzi kyokka, wabula kitaawe, Ernest Kibirige, ye yali heedimansita waabwe mu biseera ebyo.
Omu ku ba ffamire ya Deborah, yategeezezza nti eky’okuttibwa kwa muwala waabwe ne bba kyabakubye wala nnyo olw’ensonga nti ne kitaawe omugenzi Rehoboam Lume Kisadha, eyali akola mu kampuni ya Nytil, naye bw’atyo bwe yattibwa ebyembi ne gyebuli eno, omulambo gwe, tebagukubangako kyamulubaale.
Zo enteekateeza z’okuziika tezinnaba kukakasibwa ba ffamire. Wabula Grace Nyiringabo, ku lwa ffamire, yasabye abantu okussa ekitiibwa mu bantu baabwe abaafudde nga bwe balindirira Poliisi okuvaayo ne alipoota y’okunoonyereza kwabwe.
Elizabeth Nanteza Nabeeta, yategeezezza nti enteekateeka z’okuziika zigenda mu maaso, bwa’atyo n’asaba buli omu waali okusigala nga mukkakkamu ku nsonga eno.
Yagaseeko nti, muwalawe Deborah, yali muwulize nnyo okuva mu buto era nga mukozi, era nti kye kyamuyamba bba Ambaasada Stephen Nabeeta, okumusemba n’atwalibwa mu kibuba Paris ekya Bufalansa, okubeera ne kitaawe omuto Ambaasade David K. Nabeeta, eyali asabye omuntu w’okubeera naye amuyambeko ku mirimu gy’awaka.
Okwawukanako n’abalala, aba kampuni ya A-Plus Funeral Service baaleese bifaananyi mu kusabira abagenzi, newankubadde nga Poliisi yamala dda okubakwasa emirambo gyabwe, era nga baddembe okugiziika