POLIISI y'e Nakasongola eyigga ababbi abaasaze waya z'amasannyalaze ku kyalo Kyabutaika mu Kakooge town council ne bakuliita nazo.
Ekimu ku bikondo ebyasaliddwako waya.
Waya zaasaliddwa ku bikondo bibiri mu kiro ekyakeesezza Mmande era abatuuze bagamba nti ku ssaawa we baasaliddemu ebikondo bino baalabye mmotoka y'ekitongole ky'amasannyalaze ekya UECDL ng'efubutuka mu kitundu kino ng'edda e Luweero ng'etambula mpola ng'essizzaako amataala.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti baatuuse mu kitundu ne basanga ebikondo ebyasaliddwako waya ne n'aggulawo omusango gw'okubba waya nga bwe bawenja abaakoze ekikolwa kino.
Waya ezaasaliddwa.
Ssentebe wa disitulikiti ya Nakasongola Sam Kigula yategeezezza nti obubbi bwa waya z'amasannyalaze bucaase nnyo mu kitundu kino naddala mu ggombolola y'e Kakooge, Katuugo n'ebintu ebirala ekireka abatuuze mu kibululu n'abalala omuli abatundira eby'okunywa okufiirwa bizinesi zaabwe.