Ennyumba y'omulabirizi we Namirembe egenda kuwemmenta obuwumbi 5

OBULABIRIZI bw'e Namirembe busaze ssente, Abakristaayo ze balina okusasula nga bayita mu kkanisa zaabwe, ziyambeko mu kuzimba amaka amatirobona ag'Omulabirizi.

Ekifaananyi ekisiige ekiraga amaka g’omulabirizi w’e Namirembe, ge baagala okuzimba.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBULABIRIZI bw'e Namirembe busaze ssente, Abakristaayo ze balina okusasula nga bayita mu kkanisa zaabwe, ziyambeko mu kuzimba amaka amatirobona ag'Omulabirizi.
Bukedde yafunye ekifaananyi ky'abakugu mu by'okuzimba kye baakubye nga kiraga amaka g'Omulabirizi, agasuubirwa okuwemmenta obuwumbi 5 bwe ganaafaanana nga gawedde. Okusinziira ku kifaananyi, amaka g'Omulabirizi ganaamiriza nga gaakubaako ebintu eby'omulembe ebyenjawulo omuli: ebisenge ebisoba mu 10 ebisulwamu nga buli kisenge kirimu ebintu eby'ebbeeyi, ebisenge ebinene omuteesezebwa (Conference halls) era ng'ebiseera ebimu, omulabirizi asobola okutuuza enkiiko mu maka ge.
Era kuliko ‘chappel’ Omulabirizi n’abagenyi mwe bagenda okusabiranga n'ebirala. Rev. Grace Kavuma ow'empuliziganya ku pulojekiti eno yagambye nti okutema evvuunike ly'omulimu gw'okuzimba ennyumba eno kwakubaawo nga August 10, 2025
EKKANISA BAZISALIDDE OBUKADDE 480
Mu kaweefube w'okusonda ssente obuwumbi 5 ez'okuzimba ennyumba y'omulabiriza, akakiiko akassibwawo ku by'okuzimba ennyumba nga kali wamu n'obulabirizi baasalidde amakanisa ku busumba, ssente ezirina okusondebwa Abakristaayo ziyambeko mu mulimu guno.
Ssentebe w'akakiiko akazimbi, Ssaalongo Stanley Kalyango yategeezezza Bukedde nti ssente obukadde 480 ze z’okuva mu nteekateeka eno.
Ssaalongo Kalyango yagambye nti wateekeddwaawo empenda endala omugenda okuyitwa okufuna sente zino.
OKUSIKA OMUGUWA
Wabula waabaddewo okusika omuguwa ku kifo ennyumba y'omulabirizi w'egenda okuzimbibwa ku ky'okumenyawo enkadde eriwo oba okugikolamu ennoongosereza byonna ne bigaana ne kisalibwawo, bazimbe endala eyeetongodde.
Okusalawo okulekawo ennyumba enkadde kyava ku byafaayo byayo ebyamaanyi eri Ekkanisa ya Uganda n'Obwakabaka bwa Buganda kuba mwe mwakolebwa endagaano ya 1900 wakati wa Buganda n'obufuzi bw'ettwale lya Bungereza ku bintu eby'enjawulo