King Ceasor University Museveni agiwadde Charter

PULEZIDENT Yoweri Kaguta Museveni awadde aba King Ceasor University Charter ebakakasa nga ettendekero erisajjakudde, n'abasaba okutumbula amasomo ga sayansi. 

Aba King Ceasor University nga bwakwasibwa ebbaluwa
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

PULEZIDENT Yoweri Kaguta Museveni awadde aba King Ceasor University Charter ebakakasa nga ettendekero erisajjakudde, n'abasaba okutumbula amasomo ga sayansi. 
Nga 3 July Museveni yateeka omukono ku kiwandiiko ekikakasa ssetendekero eno okutandika okusomesa diguli ey’okubiri (Masters degree) Kwosa PHD era nga leero ebbaluwa ebakwasiddwa Steven Okot ow’ebyamateeka okuva mukakiiko akalungamya eby’enjigiriza ebyawaggulu.

Aba King Ceaser University oluvannyuma lw'okufuna Charter

Aba King Ceaser University oluvannyuma lw'okufuna Charter


Okot  eyettise obubaka bwa Pulezidenti Museveni omuli Charter okubutuusa eri abatwala ssetendekero lino e Bunga agambye nti  King Ceasor University yatuukirizza ebisaanyizo byonna ebyagisabwa abakiiko kano akavunanyizibwa kubyenjigiriza ebya Waggulu.
Amyuka Chancellor wa yunivasite eno Dr. Charity Basaza Mulenga asiimye gavumenti olw’okubesiga era nasuubiza okukuuma omumuli guno nga babangula abayizi mungeri ey’ekikugu.
Omubaka wa Vietnam mu Uganda King Ceasor Mulenga era Chancellor wa setendekero lino asiimye gavumenti olw’okuwa omukisa abantu ba bulijjo okwenyigira mu by’enjigiriza nga bateekawo amatendekero nga gano ogw’obwannanyini.
Ono agamba nti kebafunye Charter agenda kusiga obukadde bwa doola bubiri mu laboratory okutumbula amasomo ga sayansi.