WABADDEWO okulwanagana okw’amaanyi n'obunyazi e Iganga wakati w'abawagizi b'abeesimbyewo ababiri eggulo.
Abantu bana okuli n'omumyuka w'omubaka wa gavumenti mu kitundu ekyo, Ronald Mwase 35, Sharif Boogere 26 ddereeva nga mutuuze w'e Nabigando Prisons , Zarid Basiisi, ne Ronald Mumbya, bakwatiddwa poliisi e Iganga.

Mmotoka emu ku ezo ezaabaddeyo.
Mu ngeri y'emu era emmotoka 3 nazo ziboyeddwa poliisi nga kuno kuliko nnamba Drone UBF 800K , Noah nnamba UAY 559 F , ne Canta UAX 468J .
Akavuyo kaabadde mu kibuga Iganga ku luguudo lwa Nkuubi Road . Abamu ku baanyagiddwa , kuliko Joel Ngobi 28 omusuubuzi nga bamunyaze 70,000/ emizindaalo gy'emmotoka ye n'ebintu ebirala, omulala Ali Kulabula 27 naye bamubbye essimu ne ssente ze, Hamuza Muganza naye baamubbye wamu ne Arafaati Ngoobi owa bodaboda gwe baanyazeeko ssente n'essimu.