Ababbi abatambulira ku Bodaboda ko n'abayingira mu mayumba basattiza abatuuze ba Kondogolo Zooni ekisangibwa mu Muluka gw'e Kyanja mu Munisipaali y'e Nakawa nga bagamba nti ababbi basusse okukuba abantu obuyinja n’okubabba.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Kansala w'ekitundu, Zuena Nakayemba n’atwala eby’okwerinda mu kitundu David Muwanga bagamba nti obunkenke bweyongedde mu kitundu kyabwe olw'ababbi abatambulira ku Bodaboda abeyongedde nga batulugunya abantu n’okubakuba bu peeva.
Nakayemba ategeezezza nga ababbi bano bwebakozesa omukisa gw’abantu abakeera okugenda ku mirimu gyabwe olwo nebabafumbiikiriza mu bufunda nebabatulugunya n’oluvannyuma nebababba.
Emmanuel Mawerere omutuuze mu kitundu kino, nga ono yakubwa peeva bweyali akedde okugenda ku kanisa agamba yasanga abasajja abaali ku pikipiki n’adda ku bbali abaviire bayitewo kyokka yagenda okuddamu okuwulira nga akubiddwa ekintu ku mutwe kyeyategeera oluvannyuma nti yali peeva nga abazirakisa bamutuusizza mu ddwaliro.
Yekokodde abamu ku bavubuka ababbi abakuba enkambi mu kitundu kyabwe nga balabikako mu budde bw’ekiro nga bavuddeyo oktigomya abantu omuli n’okubayingirira mu mayumba nga bmenya enzigi.
Kansala Nakayemba agamba nti enkulakulana gy'ekomye okweyongera mu Kyanja n'ababbi gyebakomye okweyongera n'asaba Poliisi okwongera okukwatagana n'abatuuze okusobola okuzza embeera mu nteeko.
Abatuuze mu kitundu kino bawanjagidde KCCA ebunyise amataala ku nguudo okusobola okukendeeza ku bumenyi bwamateeka obw’ekikula kino mu kitundu kyabwe nebasaba ne bannabwe okukomya omuze gw’okutambula ekiro ewatali nsonga nkulu.