Abaanyaga ettaka ly'omukadde balibasesemezza

ABAZZUKULU boogedde ebitakwatagana ng'omuwabuzi wa Pulezidenti ku by'ettaka Phiona Barungi bwebababadde abakunya ssaako n'okubabuuza  omuwabuzi wa Pulezidenti ku by’ettaka Phiona Barungi ku ani yabawa obuyinza okutunda ekibanja ky'omukadde eri ba bbulooka e Wakiso nne batuuka n’okukisalamu obupoloti ku kifuba.

Omuwabuzi wa Pulezidenti Phiona Barungi ng'akunya abagambibwa okunya ettaka ly'omukadde
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
ABAZZUKULU boogedde ebitakwatagana ng'omuwabuzi wa Pulezidenti ku by'ettaka Phiona Barungi bwebababadde abakunya ssaako n'okubabuuza  omuwabuzi wa Pulezidenti ku by’ettaka Phiona Barungi ku ani yabawa obuyinza okutunda ekibanja ky'omukadde eri ba bbulooka e Wakiso nne batuuka n’okukisalamu obupoloti ku kifuba.
 
Micheal Kanakulya ne Jonathan Kayondo abazzukulu ba Isaiah Muyiiya eyali nannyini ttaka eriwezaako yiika 154 bebaakunyiziddwa ku butya bwe baafuna obuyinza okuva ku kitaabwe Edward Nakibinge ng’ate akyali mulamu.
 
Ettaka lisangibwa ku kyalo Lujji mu ggombolola ya Wakiso-Mumyuka mu disitulikiti ye Wakiso nga lyali lya mugenzi Isaiah Muyiiya.
Phiona Barungi nga balambula ettaka

Phiona Barungi nga balambula ettaka

 
Barungi yabuzizza Kanakulya oba alina ekyapa ky’ettaka ly’ayogerako ssaako butya bweyafuba obwa administrator, kyokka ono n'ategeeza nti yali atunda ku mugabo gwa kitaawe gwe yamuwa.
 
Batrungi bwe yayongedde okukaza Kanakulya ku buwandiike bwebyo byayogerako, yatandise kunanagira.
 
Yagambye nti baali ne Kayondo muzzukulu munne nga bakola ku by’okukyusa ekyapa mu 2011, kyokka natalambulula bulungi ani yabawa empapula ezikyusa ekyapa ssaako okulaga baani ba adminsitrators.
 
Bano abazzukulu baabuziddwa ebbanga lye bamaze ku ttaka ne basooka okugamba nti kwebakulidde, kyokka ekyaddiridde Kayondo n'ategeeza nti baava  Ssingo mu 1995 ne basenga ku ttaka eryo kyokka Nabisubi gwe bagobaganya amazeeko emyaka 90.
 
Nabisubi annyonnyodde;
Nabisubi yategeezezza nti ekibanja kyaliko kyali kya bba Edward Kasolo eyakisikira okuva ku kitaawe (nga yagula ku Muyiiya) era nga kuno bawangaliddeko ebbanga ddene nnyo nga kwebalimirira n’emmere gyebalya ewaka.
Ensonga nga zikutte enkaddanggo

Ensonga nga zikutte enkaddanggo

 
Kyokka nti emyaka 90 gyamazeeko ebizibu byatandika okumujjira, ba bbulooka abaamugamba nti bava Wakiso bajja ne tulakita ne basenda emmere ye ssaako okusumulula ente ze nga bamutegeeza nga bwatalinaawo kibanja.
 
Yategezezza nti yagezaako okuddukira ku poliisi e Wakiso kyokka bano mu kifo ky’okukwata ba bbulooka ate baabawa buwi bukuumi olwo ate abazzukulu ababeera ewaka nga bebavundira mu makomera.
 
“Kanakulya oyo ne babbulooka we Wakiso bantulugunyizza nnyo era nsula ku tebukye, nnababuuza gyebaggya obuyinza okuntulugunya kyokka nga bantegeeza nti ettaka lya Muyiiya siririnaako kakwate era tebamanyi bwenajjawo.
 
Barungi awadde ebiragiro;
Phiona Barungi yalagidde Kanakulya okwesonyiwa ekibanja ky'omukadde era n'amulagira okunoonya ba bbulooka beyaguza abaddize ssente zaabwe, mukadde asigaze ekibanja kye nga bwekyali.
Omukadde nga bamuwaniridde ayogera

Omukadde nga bamuwaniridde ayogera

 
Yalagidde poliisi okuta ssaako okuggya emisango kub’oluganda lwa Nabisubi abaakwatibwa ku maanyi ga Kanakulya era nasaba poliisi ekole fayiro enonyereza ku Kanakulya ne banne bwe bali munkutulugunya omukadde.
 
“Pulezidenti yakilambika bulungi nti ow’ekibanja alina amaanyi ku ttaka era tasanye kugobaganyizibwa, kati ebyo bye mukola eby’okugobaganya omukyala omukadde bwati tetujja kubikkiriza kuba temulina buyinza butunda oba okugabanya ettaka lya jjajja mmwe.” Barungi bweyayongeddeko.
 
Yategezezza ng’ebikolwa bya Kanakulya ne Kayondo bwebiri eby’obubbi ssaako obunyazi kuba batunda tebalina wadde akawandiiko akabakkiriza okubaako gwe baguza oba okubaako ow’ekibanja gwebasala ku kibanja lye.