Ekkanisa esabye baddemu okulonda abeegwanyiza eky’Obulabirizi mu Busoga

EKKANISA ya Uganda esabye Obulabirizi bwa Busoga okuddamu okuweereza amannya amapya ag’Abasumba abeegwanyiza ekifo ky'Omulabirizi w’ekitundu kino.

Omulabirizi wa Busoga anaatera okuwummula Paul Samson Naimanhye ng’asiibula abagoberezi ku Lutikko e Bugembe nga July 20, 2025.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKKANISA ya Uganda esabye Obulabirizi bwa Busoga okuddamu okuweereza amannya amapya ag’Abasumba abeegwanyiza ekifo ky'Omulabirizi w’ekitundu kino.
Omuwandiisi w’oku ntikko mu kkanisa ya Uganda (Provincial Secretary), Rev. Can. William Ongeng akakasizza bino oluvannyuma lw’olukiiko lw’Abalabirizi olwa House of Bishops okukomyawo amannya agaasoose okuweerezebwa.
Gye buvuddeko, Ongeng yafulumya ekiwandiiko ng'awakanya ebyali biyiting’ana ku mitimbagano nga biraga Obusoga bwe bwali bufunye Omulabirizi omuggya ekitaali kituufu.
Omulabirizi Paul Samson Naimanhye agenda kuwummula mu December w’omwaka guno. Naimanhye yatuusizza emyaka egiwummula era yatandise okusiibula abagoberezi mu kkanisa ez’enjawulo. Ensonda zaategeezezza nti okusaba amannya kiddiridde amannya ag’abaawule babiri abassaamu okusaba kwabwe ku kifo kino okuwandulwa.
Kigambibwa nti, kino kyajjawo oluvannyuma lw’Abakristaayo mu Busoga okubaga ekiwandiiko ne bakiweereza Ssaabalabirizi Dr. Stephen Samuel Kazimba Mugalu nga babeemulugunyaako olw’obutatuukana na nnono za kkanisa.
Omu baamuwandiikako nti mulyake, mwenzi ng’aliko abaana bataano be yazaala ebweru mu bakazi bana ab’enjawulo ate nga mufumbo.
Ate omulala bagamba nti, abadde yaakawasa emyaka esatu egiyise sso nga musajja mukulu asussa emyaka 55.
Naimanhye yalondebwa ku Bulabirizi nga July 31, 2015 era n’atuuzibwa nga January 24, 2016 nga Omulabirizi owookusatu ng’adda mu bigere bya Rt. Rev. Dr. Michael Kyomya