Okuzimba akatale k’e Wakiso kutandikidde mu nkalu

Okuzimba akatale k’e Wakiso kutandikidde mu nkalu

Akatale k’e Wakiso akaali katandise okuzimbibwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASUUBUZI b’e Wakiso ababadde balindirira okubazimbira akatale akapya bafunye ku kamwenyumwenyu oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti, kagenda kutandika kuzimbibwa mu mwezi guno.
World Bank yawadde disitulikiti y’e Wakiso obuwumbi 51 okuzimba akatale ak’omulembe aka kalina nga kano kagenda kutwala omwaka gumu n’ekitundu nga kazimbibwa.
Akatale kano ke kamu ku pulojekiti ezaalondebwayo okukolebwa mu nkola ya Greater Kampala Metropolitan Area oluvannyuma lw’okuzuula nti, abasuubuzi bangi abakalimu kyokka we bakolera si wateeketeeke bulungi.
Abasuubuzi abali mu katale kano bali 600 kyokka olw’okuba beegabanya ebifo ebinene abamu ne bafikkira, akatale akagenda okuzimbibwa aka kalina basuubira nti, kagenda kubaamu abasuubuzi abasukka mu 5000 ekiwa Wakiso Town Council essuubi nti, teri ajja kusigala ng’akolera ku luguudo.
Emabegako abasuubuzi beesondamu ssente okuzimba akatale kyokka olw’okuba baasonda ntono omulimu gw’okuzimba gwakoma mu kkubo nga n’ebizimbe ebimu tebyaggwa era bano beekubira enduulu eri abakulu, kwe kuteeka akatale mu pulogulaamu.
ENKALU MU KUSENGULA ABASUUBUZI
Ebimu ku byasabiddwa abasuubuzi, kwe kufuna we basengukira olwo omulimu gw’okuzimba akatale gutambule nga tewali kutaataaganyizibwa era ne basaba abasuubuzi bagende mu katale k’obwannannyini akali mu kabuga k’e Wakiso.
Akulira abakozi e Wakiso, Alfred Malinga yabasaba okukwatagana obulungi n’abakolera mu katale k’obwannannyini akaakazibwako aka PEPSI, kyokka kino Town Clerk wa Wakiso Town Council, John Mabanja n’akiziimuula.
Mabanja mu kifo ky’okulagira abasuubuzi okugenda mu katale disitulikiti ke yasalawo, yasazeewo kukwatagana n’omugagga w’omu Wakiso ne bayiwa ettaka mu lutobazzi ekyavuddeko n’emyala egitambuza amazzi okuzibikira.
Abakulira eby’obutonde bw’ensi ku disitulikiti y’e Wakiso baawandiikidde Mabanja nga bamusaba okuyimiriza okuyiwa ettaka mu lutobazzi kyokka n’ategeeza nga bwe batalina kumuwa kya kukola kuba ye buli ky’akola akimanyi.
Akulira abasuubuzi mu Wakiso, Vincent Kasozi yategeezezza nti, tebayinza kukkiriza bakulu ku Town Council e Wakiso okumala gabasalirawo nga tebatuuzizza nkiiko kwogerako nabo ku ngeri pulojekiti bw’egenda okutambula.
Town Clerk, Mabanja bwe yatuukiriddwa Bukedde yategeezezza nti, tamanyi bayiwa ttaka mu lutobazzi. Ate ku ky’abasuubuzi we bagenda okukolera yagambye nti, bagenda kwesetulamu katono mu katale kennyini we bali bakazimbe mu ffeezi.
CAO ATABUKIDDE ABAKOZI BE
Akulira abakozi e Wakiso, Alfred Malinga yatabukidde omuyambi we Achilles Kiwanuka, Town Clerk Mabanja, ssaako akulira eby’obusuubuzi e Wakiso, James Musaazi Kigozi ku lwaki bakola ebintu wabweru wa disitulikiti ne
Doreen Nalukenge: Town Clerk Mabanja ndowooza ke kaseera atuviire kuba tayinza kuvaayo n’akola kusalawo kwe nga ffe ba kkansala tetumanyi.
Frank Kiyingi Bbosa: Eky’okuzza abasuubuzi mu lutobazzi kikyamu kuba Mabanja twamusaba atuuze kkanso ey’amangu banoonye ekifo we babasengulira.
Bin Musa Tamale : Twanoonya we tugenda okusengulira abasuubuzi olw’okuba Wakiso akuze, ekifo kyatubula. Twakwatagana n’omugagga atuwe ekifo nga kya kaseera. Kye bagamba
batuuka n’okwekobaana n’abagagga mu kusaanyawo obutonde bw’ensi.
Yeebuuzizza nti, lwaki baasulawo enteekateeka z’okusengulira abasuubuzi mu katale ka PEPSI ne basalawo ate okuyiwa ettaka mu lutobazzi nga tewali na lukusa kuva mu NEMA ssaako abakola ku by’entobazzi mu Wakiso.
Yagambye nti, yawandiikidde Mabanja ebbaluwa emulagira okuggyawo ettaka mu lutobazzi era era waakukwatagana ne poliisi e Wakiso ekwate abo bonna aboonoona obutonde bw’ensi