Ebibuuzo bya UVTAB bitandise

EKITONGOLE ekibaga wamu n’okugolola ebigezo by’amasomo g’ebyemikono, obusawo n’ebyekikugu ekya Uganda Vocational Training and Assessment Board (UVTAB), kitandise okukozesa abayizi abasoba mu mitwalo 5 ebigezo eby’akamalirizo ebyatandise ku Mmande nga August 11 nga bya kukomekkerezebwa August 22, 2025.

Oyesigye
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKITONGOLE ekibaga wamu n’okugolola ebigezo by’amasomo g’ebyemikono, obusawo n’ebyekikugu ekya Uganda Vocational Training and Assessment Board (UVTAB), kitandise okukozesa abayizi abasoba mu mitwalo 5 ebigezo eby’akamalirizo ebyatandise ku Mmande nga August 11 nga bya kukomekkerezebwa August 22, 2025.
Ssaabawanndiisi wa UVTAB, Onesmus Oyesigye bwe yabadde mu lukung’aana lw’abamawulire ku kitebe ky’ekitongole kino e Ntinda yategeezezza nti, abayizi 55,991 be bagenda okubikola nga bano babituulidde mu bifo 373 ebyakakasiddwa. Ajjukiza abakulira amasomero okutimba amannya g’abayizi bonna ab’okukola ebigezo, kisobozese abayizi okwetegereza obulungi.
Alabudde abayizi abagenda okwenyigira mu mize gyonna egy’okukoppa ebigezo nti, bubakeeredde. Yagambye nti, omuyizi yenna oba omuntu omulala anaasangibwa nga yeenyigira mu mize egimenya amateeka g’ebigezo bino ajja kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe. Oyesigye yagambye nti, ensoma y’ebyemikono eyambye nnyo eggwanga okumalawo ebbula ly’emirimu mu ggwanga okusinziira ku kunoonyereza kwe bakoze.
Agamba nti, ensoma eno eyambako abantu ab’enjawulo okufuna obukugu mw’ekyo kye baba basobola okukola nga basaana okwettanira ensoma eno