Bisopu omukazi gwe yagobye mu maka atwala baana ku DNA

MUNNADDIINI akulira Orthodox Anglican Church mu Uganda, Rt. Bp. Dr. ConneriusKateregga Bakubanja eyagobeddwa mu maka olw'obutakkaanya ne mukyala we,  asazeewo okutwala abaana be yamuzaalamu ku DNA okukakasa oba ddala y'abazaala!

Bp. Bakubanja (wakati) n’abamu ku baana
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MUNNADDIINI akulira Orthodox Anglican Church mu Uganda, Rt. Bp. Dr. Connerius
Kateregga Bakubanja eyagobeddwa mu maka olw'obutakkaanya ne mukyala we,  asazeewo okutwala abaana be yamuzaalamu ku DNA okukakasa oba ddala y'abazaala!
Bino biddiridde Bp. Kateregga (68) okutabuka ne mukyala we naye omuweereza mu kkanisa ya Church of Uganda, Rev. Eron Zawedde n'abaana be bonna omukaaga b'alumiriza okumutulugunya ne baagala n’okumutta batwale ebyobugagga bye by’agamba nti abikoledde ebbanga.
Bp. Bakubanja, mutuuze ku kyalo Gayaza B mu Kasaali Town Council e Kyotera ng’eno gy’alina enkulaakulana okuli ettaka eriwerako kwossa amasomero erya pulayimale n’erya siniya ge yatuuma Gayaza P/S ne Gayaza SS. Ku kyalo kye kimu, kwe kuli n’amaka ge yadduseemu n’abudama ku kawoofiisi akamu ak’essomero lye erya siniya nga kati mw’asuula wansi ku kafaliso akamuweebwa omu ku bayizi mu ssomero lino ng’entebe (desk) z’essomero z’akozesa nga entebe z’omu nnyumba!
Mu kwogerako ne Bukedde, Bp. Kateregga yalaze ennaku gy’ayitamu olwa mukyala we Rev.Zawedde bwe bamaze emyaka 40 mu bufumbo obutukuvu okukwatagana n’abaana be okwagala okumutta batwale ebintu bye. Agamba nti kye baasembyeyo okumupangira kwe kwagala okumuwamba bamutwale noona emitwe.
Ssaabawaabi wa Gavumenti ya America, General Pam Bondi  yalabudde nti nga Trump akyali u buyinza, Maduro alina okukwatibwa.
Mu kisanja kya Trump ekyasooka, Maduro yasingisibwa omusango gw’okwekobaana
okuyingiza enjaga mu America n’ebikolwa eby’effujjo ebikwatagana n’enjaga.
Yavunaanibwa kkooti ya Manhattan Federal Court mu kibuga New York mu 2020 wadde
teyali mu kkooti. Kwolwo, ekirabo ekyateekebwawo eri anaamubatwalira kyali kya bukadde 15 obwa doola. Kyokka eyali Pulezidenti Joe Biden bwe yajja mu buyinza,
yakirinnyisa okutuuka ku bukadde 25.
Zino ze ssente ze zimu ezassibwa ku yenna anaabatuusa ku kukwatibwa kwa Osama Bin
Laden eyaluka olukwe olwakuba America n’efiirwa abantu abasoba mu 3,000 mu 2001.

Wadde ssentennyingi zirudde nga zimuteereddwaako, Maduro akyafuga Venezuela ga n’akalulu akaakubwa gye buvuddeko, kigambibwa nti yakawangula mu bukyamu.
Amawanga okuli aga European Union, aga South America n’amalala gaawakanya akalulu ke yategeka omwaka oguwedde.

Minisita wa Maduro ow’ensonga z’ebweru,  Yvan Gil naye yafulumizza ekiwandiiko ng’asambirira ebya Trump nti tebirina kye bitegeeza kuba ali mu nsonga za byabufuzi. Bondi yategeezezza ng’ekitongole kya America eky’ebyamateeka bwe kyawambye ebimu ku bintu bya Maduro okwabadde; ennyonyi bbiri ez’obwannannyini, enjaga ezitowa ttani bbiri ng’okunooonyereza
kwalaze bw’erina akakwate ne Maduro. Byonna bibalirirwamu obukadde bwa doola 700.
Omwezi oguwedde Trump yakola ddiiru ne Maduro bwe yasindika basajja be mu kibuga
kya Venezuela, Caracas ne bakola ku by’okuyimbula Abamerica 10 abaali baasibirwayo.
mu ddwaaliro ly’abalwadde b’emitwe e Butabika nga bakimutaddeko nti
mulalu.
Kino kyaddiridde abamu ku baana ne nnyaabwe okuleeta abantu abatannamanyika ne mmotoka ya ambyulensi okuva mu ddwaaliro e Kaliisizo ne bagezaako okumuwamba bwe baamusanga mu mmotoka ye n’ataasibwa abantu abalala. Akavuyo kaali kagenda mu maaso, olwo abaali bazze okumuwamba ne badduka!
Bp. Bakubanja yategeezezza mu nnaku ennyingi nti bino ababikola baagala kutwala byabugagga bye nga balina n’ebyapa bye baamubbako edda kwossa ekyapa ekirala okuli essomero kye baagezaako okumuggyako nga bamuwadde ebiteeberezebwa okuba kalifoomu mu mmere kyokka n’alwanagana nabo n’akibaggyako.

Ono agamba yeewuunya abaana be okwegatta ne nnyaabwe okumuyisa bwe batyo ng’ate yabaagala nnyo n’okubaweerera bonna ne bafuuka ab’omugasonga kati bamusasuddemu bukyayi. Agamba nti atandise n’okubuusabuusa nti abamu bandiba nga si babe era ayagala abatwale ne ku DNA.
Ategeezezza nti n’ensonga z’ekisenge omukyala yamuzira dda okuva mu 2009 nga naye
yasalawo okuzeesonyiwa okufaananako abafaaza! Wabula ono agambye okuvaayo okwogera embeera gy’ayitamu akikoze okuyamba n’abalala bangi bannaddiini nga ye abatulugunyizibwa kyokka nga batya okuvaayo okuwanjagira obuyambi.

Ono asabye bannaddiini banne okuvaayo bamulwanirire kuba embeera gy’ayitamu etadde obulamu bwe mu matigga. Alaajanidde ebitongole ebirwanirira eddembe ly’abakyala nti nabo abaami baveeyo babalwanirire kuba embeera gye bayitamu okutulugunyizibwa mu maka yennyamiza!

Bp. Bakubanja yatukulembeddemu n’atutuusaako mu maka ge yaddukamu awaabadde awasirifu nga tewali muntu n’omu era awaliriza n’okulambulako mu mbuzi ze eziri mu biyumba z’agambye nti abadde aludde okuziraba nti kuba agaali amaka, kati alingiza bulingiza nga omubbi.
Abamu ku batuuze ku kyalo okuli ne muto we Lekobawamu Kateregga boogedde ku mbeera Bp. Bakubanja gy’ayitamu ne basaba be kikwatako okumulwanirira era ne beewuunya abaana ne nnyaabwe abaagala okumusaanyaawo olw’ebyenfuna.

Ssentebe w’ekyalo Gayaza, Richard Makumbi yategeezezza Bukedde nti ensonga zino baazituulamu nga abakulembeze era ne bazitwala ku poliisi e Kyotera.

Rev. Zawedde yagaanyi okwogera ku nsonga zino kyokka omu ku baana be Daudi Walugembe yategeezezza Bukedde ku ssimu nti ensonga za bazadde be ky’azimanyiiko nti baayawukana emyaka egiwera era n’abawa amagezi ensonga bazikwate kintu kikulu mu kifo ky’okuzissa mu mawulire.