URA esazeewo ku basuubuzi abatikka emmaali mu konteyina emu

EKITONGOLE kya URA kiyise abasuubuzi abalina emmaali egambibwa okukandaalirizibwa mu konteyina eziri e Nakawa batwale empapula ezigyogerako bayambibwe okugifuna.

Olumu ku nkiiko URA z’ezze etegeka.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKITONGOLE kya URA kiyise abasuubuzi abalina emmaali egambibwa okukandaalirizibwa mu konteyina eziri e Nakawa batwale empapula ezigyogerako bayambibwe okugifuna.
Kiddiridde abasuubuzi abeegattira mu bibiina eby’enjawulo okulumiriza URA okulemera konteyina zaabwe ezigambibwa okuyingira eggwanga mu June, 2025. Okusinziira ku basuubuzi, kino kiviiriddeko emmaali yaabwe eyaleeteddwa mu nkola ya ‘groupage’ okukandaalirira ne bafiirizibwa.
“Tusaba URA okukola ku nsonga z’abasuubuzi abalina emmaali ekyalemedde ku kitebe kyayo kuba embeera y’ebyenfuna ekalubye nnyo ensangi zino ekibaviiriddeko okulemererwa okubisasulira omusolo mu kiseera kye yabawa mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde,” ssentebe wa UATEA, Edward Ntale bwe yategeezezza.
Bino olwagudde mu matu nga boofiisa ba URA abaakulembeddwa akola nga komisona w’emisolo gy’ebintu ebiva ebweru, Asadu Kisitu n’afulumya ekiwandiiko mwe beesambidde ebyogerwa abasuubuzi. Baayise buli musuubuzi alina okwemulugunya okwekuusa ku mmaali egambibwa nti yakwatibwa URA okugenda n’ebiwandiiko ebigikwatako bakole ku nsonga ze.
Mu kiwandiiko kino ekyafulumye ku Lwokubiri, URA yategeezezza nti ekigendererwa kyabwe kya kuleetawo bwerufu okutaasa abasuubuzi obutabinikibwa misolo abantu be yayise babbulooka.
Ekiwandiiko era kyalaze nti URA egendereddwaamu okuwonya abasuubuzi embeera y’okukandaaliriza emmaali yaabwe olw’abagireetera mu mannya agatali gaabwe ekikontana n’enkola ya ‘groupage’ empya eragira buli musuubuzi okwesasulira omusolo gw’ebintu bye.
“Si kituufu nti waliwo konteyina URA ze yalemera olw’enkola ya groupage empya,” omwogezi wa URA, Robert Kalumba bwe yategeezeza.
Yawadde ensonga eziviiriddeko emmaali y’abasuubuzi okukandaalirizibwa n’agamba nti, waliwo babbulooka abeeyita abavunaanyibwa ku konteyina zino abalina enkola y’okuleetera emmaali y’abasuubuzi mu mannya gaabwe ne babasaba obukadde 5 n’ekitundu ku buli kifo kye babawadde mu konteyina wamu n’okuwaayo ebiwandiiko ebikyamu mu kusasula emisolo ekibaviiriddeko okulemererwa okuggyayo emmaali.
Okusinziira ku Kalumba, babulooka bano be bali emabega w’okubuzaabuza abasuubuzi nti URA eremedde emmaali yaabwe, ekitali kutuufu kuba be baakoze ensobi y’okwetaba mu bikolwa ebikontana n’enkola ya buli musuubuzi okwesasulira omusolo gw’ebintu bye empya.
Haji Kigongo (ku kkono) ng’afuna empapula. Wakati ye Todwong abuuza ku bakungu b’akakiiko. Kozesa App ya Vision Digital Experience olabe vidiyo.
Yabawadde amagezi okusaba ba ‘ba container leaders’ empapula ezikwata ku mmaali yaabwe bazitwale mu URA ebakoleko mu nnaku ezisukka 3.
EBIKWATA KU NKOLA YA GROUPAGE ESATTIZA BABBULOOKA;
Mu nkola enkola eno, abasuubula ebintu ebweru babaddenga bakung’aanyiza emmaali yaabwe mu konteyina y’omuntu omu ‘container leader’.
Kyokka bano basanze okusoomoozebwa ku misolo egibabinikibwa n’okukandaaliriza emmaali yaabwe. Embeera eno yabawaliriza okwekubira enduulu mu URA nga baagala egikoleko mu bwangu baddamu okutambuza emirimu.
Akulira URA, John Musinguzi yayisizza ekiragiro ekiyimiriza abavunaanyizibwa ku konteyina zino obutaddamu kusasulira bannannyini mmaali musolo. Yatandiseewo n’emisomo okuva mu April, URA mw’esomesereza abasuubuzi abaleeta emmaali emitendera gye bateekwa okuyitamu okwesasulira omusolo, obuvunaanyibwa bwabwe ku mmaali etikkiddwa n’ebirala