Ab’e Busoga bategese okusaba n’okusiiba olw’endooliito mu kulonda Omulabirizi

ABAKRISTAAYO mu Lutikko e Bugembe bakubiriziddwa okwenyigira mu kusaba okulimu okusiiba nga beenenya mu maaso ga Katonda, okunaamala wiiki bbiri.

Can. Joy Mukisa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKRISTAAYO mu Lutikko e Bugembe bakubiriziddwa okwenyigira mu kusaba okulimu okusiiba nga beenenya mu maaso ga Katonda, okunaamala wiiki bbiri.
Okusaba n’okusiiba, kugendereddwaamu okwetoowaza mu maaso ga Katonda, asobozese olukiiko lw’Abalabirizi okulondera Busoga Omulabirizi Katonda gw’anaaba asiimye.
Bino byayogeddwa Dean wa Lutikko, The Very Rev. Can. Joy Mukisa Isabirye mu kusaba ku Ssande, mwe yategeerezza nga Abalabirizi bwe baakyusa, olunaku kwe baali balina okulonderako Omulabirizi omuggya okuva ku lwa August 3, 2025 okudda ku lunaku olutannalangirirwa, ekyaggya Abakristaayo abamu mu mbeera,
Rev. Can. Dr. Mukisa yategezezza nga bwe yagenda e Masindi, awaali okutuuza Omulabirizi wa Masindi Kitara omuggya n’agamba nti wadde teyeetaba mu lukiiko lw’Abalabirizi, yali agoberera ebyali bigenda mu maaso.
Yategeezeezza nti Abalabirizi baali tebannayingira mu lukiiko lwabwe, akawungeezi ku Ssande ne bafuna amawulire nga e Busoga bwe baali batandise okujaganya nga bwe bafunye Omulabirizi omuggya, ekitaali kituufu.
Yagambye eno ye nsonga eyawaliriza omuwandiisi w’Obulabirizi, Rev. Can. Willian Ogeng, okuwandiikira Abakristaayo mu Bulabirizi bw’e Busoga, ng’abalambika nti abalabirizi baali tebannalonda.
Mu kiseera kino Ekkanisa ya Uganda yasabye Obulabirizi bwa Busoga okuddamu okuweereza amannya g’abaagala ekifo kino, oluvannyuma lw’amannya agaasooka okuweerezebwa okuzzibwayo.