'Bamaama muyonse abaana kibayambeko okukula nga tebalwalalwala'

BAMAAMA bakubiriziddwa okujjumbira okuyonsa abaana kibayambe okukula obulungi n'okubatangira endwadde.

'Bamaama muyonse abaana kibayambeko okukula nga tebalwalalwala'
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
BAMAAMA bakubiriziddwa okujjumbira okuyonsa abaana kibayambe okukula obulungi n'okubatangira endwadde.
 
 
Amagezi gano gabaweereddwa akulira pulojekiti ya Adventist Development and Relief Agency (ADRA) Uganda Jerry Kiwanuka ku mukolo ogw'okukuza wiiki y'okuyonsa  mu nkambi y'ababundabunda ey'e Kyaka ne Rwamwanja mu disitulikiti y'e Kyegwegwa.
 
 
Omulamwa gwabadde " Okusoosowaza obuyonjo olw'enkulaakulana ey'omuggundu" era omukolo gwetabiddwaako abakungu okuva mu bitongole by'obwannakyewa eby'enjawulo.
 
 
Kiwanuka yagambye nti okuyonsa abaana kikulu nnyo eri enkula yaabwe n'obulamu bwabwe obw'omu maaso era y'emu ku ngeri y'okutuukiriza ebirubirirwa eby'enkulaakulana y'eggwanga.
 
 
 
 
Yategeezezza nti ennyingo eya 40 , akatunda ako 4 mu ssemateeka w'eggwanga kwogera  ku ddembe ly'abaama n'okuzaala.
 
 
Omukungu wa minisitule y'ebyobulamu Ronald Mugabi yagambye nti abaana ebitundu 48% wakati w'emyezi omukaaga egisooka n'emyaka ebiri be bayonsebwa amabeere gokka ekiri wansi ku kiruubirirwa ky'ensi yonna eky'ebitundu 60%. 
 
 
Mu mbeera eno bannakyewa balaze obukulu bw'okusomesa bamaama okwenyigira mu kulima emmere ezimba omubiri n'okulunda embuzi ez'amata okuyambako mu nkula y'abaana ennungi.
 
 
Bbo bataata n'abakozesa basabiddwa okuwa bamaama obudde okuyonsa abaana n'okubalabirira naddala mu myezi omukaaga egisooka.