Minisita Lugoloobi atongozza okusomesa ebya Roboti

MINISITA omubeezi ow’Ebyensimbi, Amos Lugoloobi, awabudde yunivasite z’eggwanga okwettanira ensomesa empya erimu AI ne tekinologiya omupya, okuyamba okukulaakulanya eggwanga.

Minisita Lugoloobi (owookubiri ku ddyo) ng’atongoza Roboti egenda okukozesebwa mu ssomo lya Robotics ku yunivasite ya ISBAT. Ku kkono ye cansala Fred Jachan Omach, Dr Paul Giju (wakati) ate ku ddyo ye
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’Ebyensimbi, Amos Lugoloobi, awabudde yunivasite z’eggwanga okwettanira ensomesa empya erimu AI ne tekinologiya omupya, okuyamba okukulaakulanya eggwanga.
Abadde ku yunivasite ya International Business, Science And Technology University (ISBAT), bw’abadde atongoza essomo eppya erya Robotics erigenda okutandika okusomesebwa ku yunivasite eno, omuli tekinologiya wa Artificial Intelligence (AI).
Lugoloobi agambye nti, tekinologiya omupya ono alimu Roboti ayamba okutereeza embeera mu kiseera ekitono ddala ng’ekintu ekyandikoleddwaako ebbanga eddene, kisobola okutereezebwa mu bbanga lya ssaawa ng’emu olwa tekinologiya.
N’ategeeza nti, ebyuma bya Roboti bino byeyambisibwa mu bintu bingi omuli; mu bujjanjabi, entambula, okulondoola obuzzi bw’emisango, ebitaala by’oku nguudo n’ebirala nti kale byamugaso nnyo.
Yeeyamye ku lwa gavumenti nti, baakukwatizaako amasomero gonna aganaavaayo okuyigiriza ebyo ebiyamba okutumbula eggwanga. Yeebazizza aba ISBAT olw’enteekateeka eno gy’agambye nti, egenda kuyamba nnyo eggwanga okugenda mu maaso.
Ssentebe w’abatandisi ba ISBAT yunivasite, Varghese Mundamattam, yagambye nti bbo nga yunivasite ekulembera mu bya tekinologiya, baakwongera amaanyi mu kulaba nga bawa Bannayuganda eby’omutindo ebiyamba eggwanga okugenda mu maaso.
Cansala wa yunivasite Fred Jachan Omach agambye nti, Robot gye batongozza eyitibwa ISABELL y’emu ku zisoose mu ggwanga lino era nabo nga ISBAT yunivasite, abayizi baabwe wamu n’abasomesa baliko Roboti ze bakoze era nga ssi byuma kyokka, wabula kabonero ka nkukunala eri enkulaakulana y’eggwanga.
Abayizi boolesezza ne Roboti ze bakoze nga bali wamu n’abasomesa baabwe ng’ezimu ziyigiriza okukola dduyiro n’endala