Abakulembeze b'abavubuka mu Masaza basabiddwa okulondoola ssente ezigenda e Mmengo

OMUMYUKA asooka owa Katikkiro wa Buganda, Polof. Twaha Kaawaase asabye abakulembeze b’abavubuka okuva mu masaza abaatendekeddwa mu kulondoola ensimbi ezisindikibwa Mmengo mu bitundu byaabwe okutumbula obuwereeza.

Baminiista ba Kabaka nga bali n'abakulembeze b'abavubuka
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

OMUMYUKA asooka owa Katikkiro wa Buganda, Polof. Twaha Kaawaase asabye abakulembeze b’abavubuka okuva mu masaza abaatendekeddwa mu kulondoola ensimbi ezisindikibwa Mmengo mu bitundu byaabwe okutumbula obuwereeza.

Bano baatendekeddwa mu musomo gw’okulondoola ensimbi eziwerezebwa gavumenti eyawakati mu bitundu okutumbula obuwereeza eri bannansi.

Omusomo gwabadde ku kitebe ky’ebyobulambuzi mu Buganda ekisangibwa e Butikkiro e Mmengo okuva August 27-29,2025 n’agamba nti wadde balina okulondoola obuwereeza obulina okukolebwa gavumenti eyawakati, tebasaanye kwerabira kulondoola mirimu n’ensimbi ezisindikibwa Obwakabaka, okukola mu bitundu byaabwe.

“Ng’oggyeeko okulondoola ensimbi eziva mu gavumenti eyawakati, waliwo n’ezaffe zetukunganya, netuziwereeza okukola emirimu n’eriiso mulikanule ezo eziva mu Bwakabaka bwa Buganda okulaba nga zituukirizza obuvunanyizibwa bwezirina okukola,” Polof. Kaawaase bweyasabye.

Polof. Kaawaase ng’era ye Minisita avunanyizibwa ku mirimu, obweruufu, obuyiiya ne Tekinologiya yateegezeezza ng’Obwakabaka bwebulina ekitongole kya Kalondoozi, alondoola emirimu n’ensimbi z’Obwakabaka n’alaga nti bafuuse eddoboozi erigenda okumuyambako okutuukiriza obuvunanyizibwa.

Abamu ku bakungu ba Kabaka

Abamu ku bakungu ba Kabaka

“Ng’Obwakabaka tulina ekitongole kya Kalondoozi. Kalondoozi alondoola emirimu n’alondoola n’entebya y’ensimbi era nze amutwala n’olwekyo mufuuse abantu abagenda okukwatizaako okulondoola emirimu mu gavumenti ya Kabaka n’ebitongole byonna,” Polof. Kaawaase bweyayogeddeko.

Tassilo Von Droste nga y’akulira eby’obukulembeze mu kitongole kya GIZ yateegeezezza nga mu kiseera kino bwebaagala okukolagana n’Obwakabaka okusobola okutuukira ddala wansi ku bantu.

Minisita w'abavubuka mu Buganda, Ssaalongo Robert Sserwanga asabye abantu okukolagana obulungi n'abavubuka bano abatendekeddwa okulondoola obulungi ebitatambula bulungi mu bitundu ebyo.

Ssentebe w'abavubuka mu Buganda, Derrick Kavuma ateegeezezza ng'enguzi bweri buli wamu nga kyetaagisa buli muntu okusitukiramu okugirwanyisa, ensi bwenebeera yakukulakulana.

Okutendekebwa kuno kuwagiddwa  aba GIZ ne Gavumenti ye Bugirimaani abakolagana n'ebitongole ebitundu obweruufu mu Uganda okuli ofiisi ya Ssababalirizi wa gavumenti, Kalisoliso wa Gavumenti, ekitongole ekigula ebintu bya gavumenti, omukago ogutaba ebitongole by'obwannakyewa ebitumbula obweruufu gu CSBAG.