OMUBAKA omukazi owa Wakiso Betty Ethel Naluyima yerarikiridde olw’engeri oluguudo lwa Bukasa-Sentema-Kakiri gye lukolebwamu, olw’abalukola obutatekako bupande bulabula bagoba babidduka.
Oluguudo luno lwatongozebwa okukolebwa Pulezidenti Museveni mu June w’omwaka guno ng’ekimu ku bisubizo ebiri mu manifesito ye eya 2026 okulaba ng’ebyenguudo biterezebwa bulungi..
Kyokka oluguudo luno oluwezaako kilommita 12 lwatandika okukolebwa wakati mu bakulembeze okwennyamira kubutya abalukola bwebatafuddeyo kutekako bubonero bulagirira babidduka mukulukozesa.

Oluguudo olw'ogerwako
Naluyima yabadde n’akakiiko akakola ku by’enguudo mu Wakiso ssaako akakiiko k’ebyentobazi yabadde alambula enguudo eziri mukukolebwa okuli olwa Bukasa-Sentema-Kakiri ssaako nolwa Budo-Kisozi-Naggalabi.
e
Naluyima yagambye nti kkampuni yabachina eya CICCO tefuddeeyo kuteeka bugulumu naddala mubutundu obulimu obubuga ekireese obubenje okweyongera mukitundu kino nga buva ku ndiima z’emmotoka.
“Abagoba b’ebidduka bavuga endiima ku luguudo luno ate nga tubadde tusuubira nti enguudo bweziba zikolebwa Kulina okubaako obupande obulabula ekiri mumaaso ssaako n’obugulumu obukendeeza endiima.” Naluyima bweyayongeddeko.
Naluyima era nga y’akulira akakiiko k’obutonde bwensi ku disitulikiti e Wakiso yategezezza nti bagenda kutukirira abakola oluguudo luno babalage ekirina okukolebwa nga singa banalema, ensonga zakwongebwayo mu paalamenti.
Ye ssentebe w’eggombolola ya Wakiso Mumyuka, Fellix Ssemujju yagambye nti wadde baludde nga baagala okubayiira kkolaasi ku luguudo luno, naye nti singa enkolagana wakati wabantu nabakola oluguudo egaana, bajja kuwalirizibwa okukozesa omukono gw’ekyuma.
Yagambye nti wadde bayinza okutekawo obupande obulaga sipiidi gyebalina okuvugirako, kyokka nti abagoba b’ebidduka kino tebakitegeera okureka nga waliwo obugulumu obutekeddwa munguudo.
Oluguudo luno olugenda okukolebwa okumala omwaka gumu n’ekitundu lwatekebwako obuwumbi 56 wansi w’enkola ya Greater Kampala Metropolitan Affairs nga ssente zino Gavumenti yazewola mu World Bank.