Akuliira embeera y'abasirikale n'eby'emizanyo mu poliisi ya uganda AIGP Hadijja Namutebi akubirizza abantu okwenyigira mu byemizanyo ng'emu ku ngeri y'okukendeeza obumenyi bw'amateeka.
Bino abyogedde mu lukungana lwa banamawuliire olutula ku kitebe Kya poliisi e Naguru okulambika embeera ye by'okwerinda bweyimiridde mu gwanga.
Omwaka oguwedde Poliisi yategeka empaka z'omupiira zebatuuma IGP CAP. Empaka zino zibadde ziyindira mu bitundu bye gwanga ebye ngyawulo nga timu 8 zigenda mu quater final ku kisawe Kya Wakisha.
Namutebi atongoza quater final z'empaka zino n'akubirizza abantu okuwagira empaka police zetegese.
Omukungu wa FUFA Aisha Nalule asiimye police etafali lyetadde mu kutumbula omupiira mu gwanga.
Alabudde abazanyi nabawagizi okugoberera amateeka amagya agateredwawo okutumbula omutindo gw'omupiira. Balonze akalulu era bagenda kusamba nga 19 omwezi guno.