Pulezidenti Museveni agguddewo amakolero 4 e Mbale

PULEZIDENTI Museveni aggudewo amakolero 4 e Mbale n’atema n’evvuunike ly’okuzimba amakolero amalala 9 nga bino byakwongera okuwa abantu emirimu n’okussa Uganda mu nkola y’amakolero.

Prezidenti Museveni (ku ddyo) ng’aggulawo Nice Textiles in Mbale Industrial Park ne ba Yivensita okuva e China nga bakulembeddwa Paul Zhanga.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni aggudewo amakolero 4 e Mbale n’atema n’evvuunike ly’okuzimba amakolero amalala 9 nga bino byakwongera okuwa abantu emirimu n’okussa Uganda mu nkola y’amakolero.
Asuubizza okuyamba bannamakolero mu ggwanga okulaba nga bakola ku bintu ebiba bibatawaanya ne bikalubya emirimu, abasuubizza okubazimbira omwala omunene guyambe ku mataba agabalumba mu biseera by’enkuba. Omukolo gwabadde mu kifo kya Bannamakolero ekya Sino Uganda Mbale Industrial Park ng’amakolero agagguddwaawo kuliko: Unisteel industry, Xinglong textile, Timbe, Yangze industries, Mino technology Ltd nendala.
Museveni yategeezezza nga amakolero gano bwe gayamba ku nkulaakulana y’eggwanga naddala nga bawa bannansi emirimu. Agamba kino kyakuyamba ensi okukulaakulana. Era yategeezezza nga bwe yasasula bannannyini ttaka lino okulaba ng’ekifo kifuulibwa ekya bannamakolero era alina enteekateeka z’okuzimba ekifo nga kino mu bitundu by’eggwanga ebirala. Asabye Abagisu okwongera okwenyigira mu kulima kuba emmere gye balima abantu abakolera mu makolero gye balya nabo kibayambe okwongera okufuna ssente.
Asiimye Chairman Paul Zhanga ne banne olw’okutumbula Uganda nga bazimba amakolero gano era waakuyamba bamusigansimbi bano okulaba nga bayambibwa mubintu ebibasoomooza. Minisita wa ba musigansimbi, Evelyn Anite yabaanirizza era ne yeebaza Pulezidenti okuba n’ekiteeso okutandikawo amakolero 73 ng’abantu 11,000 be bakoleramu mu kiseera kino naye nga bagenda kwongerako kuba beetaaga amakolero 200.