ABATUUZE ku kyalo ky’e Mwererwa mu divizoni y’e Gombe, baaguddemu ekyekango, embwa bwe zizinze omukyala abadde akola emirimu gye awaka ne zimulumaaluma n’afa ng’atuusibwa mu ddwaaliro lya Gavumenti e Buwambo okufuna obujjanjabi.
Afudde ye Jane Nakibirango 50 ng’abadde mutuuze ku kyalo kino ng’ono yabadde yaakava ku dduuka okubaako by’agula kyokka yabadde yaakatuuka awaka, embwa ezaabadde ennyingi zazze ne zitadika okumuluma era omutuuze eyabadde okumpi yazze n’azigoba wabula zaagenze okumuta nga yenna zimulumyerumye.
Abatuuze baagezezzaako okumuddusa mu ddwaaliro wabula n’afa nga bamutuusa mu ddwaaliro ly’a Gavumenti ery’e Buwambo. Abatuuze ku kyalo kino baagambye nti embwa ku kitundu kino zifuuse za bulabe era abantu bangi kati bali mu kutya.
Ssentebe wa Gombe, Ssaalongo Kamya Haruna yategeezezza nti ekizibu kiri ku bannannyini mbwa okuzireka okutaayaaya kuba bangi ku batuuze baludde nga beemulugunya ku mbwa zino.
Kansala w’ekyalo kino, Noah Kasumba yagambye nti kati abantu batya okutambula olw’embwa ezifuuse ekizibu ate nga n’abaana abato babatiisa okutambula nga wano we basabidde be kikwatako naddala aba Nansana Munisipalite okuvaayo okulaba ng’embwa zino bazitta kuba bo abatuuze bali ku bunkenke.