Emmaali y’Abasuubuzi b’embaawo e Bwaise etokomose

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo ekibanda ky’embaawo e Bwaise ebintu bya buwumbi ne bisaanawo abasuubuzi ne basigala nga tebamanyi kya kuzzaako.

Abasuubuzi nga beetegereza emmaali yaabwe eyayidde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo ekibanda ky’embaawo e Bwaise ebintu bya buwumbi ne bisaanawo abasuubuzi ne basigala nga tebamanyi kya kuzzaako.
Omuliro oguteeberezebwa okuva ku masannyalaze ogwakutte mu kiro gwayokezza ekibanda ky’abasuubuzi b’embaawo e Bwaise mu kibangirizi kya Bwaise Business Centre ng’emmaali ebalirirwa mu buwumbi ye yatokomose.
Ebintu okuli masiini ezisala n’okuwunda embaawo nga buli emu ebalirwamu obukadde 70 zaayidde gattako embaawo zennyini.
Ssentebe w’abasuubuzi mu kibangirizi kino, Godfrey Ssentongo yannyonnyodde nti, omuliro gwatandise ku ssaawa 6.00 nga kigambibwa nti, gwavudde ku masannyalaze agaludde nga gabatawaanya nga gavaako bwe gaddako olw’omujjuzo gw’ebyuma ebikozesebwa ate nga tulansifooma balina emu.
Abasuubuzi baategeezezza nti, baludde ekiseera nga beekubira enduulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku masannyalaze okubawa tulansifooma naye tebafuna kuyambibwa kwonna.
Abakulembeze ab’enjawulo
abaakulembeddwa Emmanuel Sserunjogi Meeya w’ekitundu, Isaac Ssali Keith n’abalala baatuuseeko mu kifo kino okusaasira abaafiiriddwa ebintu byabwe. Ying. Kizza Nsubuga n’abalala baategeezezza nti, babadde ne masiini ezisoba mu 30.
Mmeeya Sserunjogi yasabye Gavumenti esitukiremu n’ebitongole ebirala okuyamba ku basuubuzi bano kuba bawa abavubuka emirimu nga kati kyandivaako obumenyi bw’amateeka okweyongera olw’emirimu gye babadde bakola okuvaawo. Yasabye abasuubuzi bano okwekolamu akakiiko ka bantu 10 basobole okusaba obuyambi nga bayita mu bukulembeze bwabwe era yawaddeyo emitwalo 50 gisobole okubayambako mu nteekateeka eno.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, poliisi etandise okunoonyereza okumanya ekyavuddeko omuliro