AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo aduukiridde abakyala abasajja be basula mu nnyumba n’abaana baabwe gattako abavubuka abakolera mu lufula y’e Masanafu n’obukadde 10.
Namyalo ng'ayogerera mu bakyala n'abavubuka e Masanafu
Ekikwata ku mukyala yenna nga bba yamuzaalamu abaana n’amala nabamusulira ye mukazi wattu n'asiggala nga yalina okubanoonyeza eky’o kulya ne fiizi, awo nfiirawo era ye nsonga lwaki ndi wano okulaba nga nsobola okubakwatirako okulaba nga mufuna kapito abayambako okufunira abaana baamwe fiizi.
“Nze nga Namyalo ne offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga gye nkulembeera ngenda kuwa abakyala abakolera mu lufula obukadde buttaano ku Lwokubiri nga September 16, 2025 wiiki ejja gattako n’abavubuka abakoleera mu lufula muno bazzukulu ba Museveni nabo obukadde buttaano ku Lwokubiri nze mwenyini ngenda zibakwasa” Namyalo bweyategezezza.
Namyalo ng'ayogera eri abasuubuzi
Bino Namyalo yabyogeredde mu Lufula y’e Masanafu esangibwa mu Wakiso ku Lwokuna bwe yabadde agenzeeyo okulaba embeera gye balimu oluvannyuma lw’okusaba disitulikiti Khad w’e Wakiso Shiek Erias Kigozi okubagambira ku Namyalo abakwatte ku Mukon
Namyalo yasabye abakyala bano n’abavubuka mu Lufula y’e Masanafu okuwandiikira omukulembeze w’e ggwanga ebbaluwa mu butongole nga bamusaba atteeke ssente mu SACCO zabwe gattako ebyetaago byabwe byonna bagimuwe eggya kugyetwalirayo ssaako naye okubanoonyeza ebintu ebikalu bye basobola okukozesa okwejja mu bwavu.
Ezimu ku SACCO z’abakyala bano kuliiko “Lufula Women's Group, Nawuta Women's Group, Tuli bumu Women’s Group, Banana Saller’s Women Group, Naseere Women’s Group n’ebirala.
Namyalo ng'ali n'abakulembeze b'alufula
Mu ngeri y’emu Namyalo yasabye abakyala bano okutwala obudde bamanye enkola za gavumenti ez’enjawulo mwe basobola okuyita okufuna ku ssente nga eza PDM, Emmyoga, Grow n’enddala kubanga Pulezidenti Museveni yaziwa bannayuganda bonna okusobola okwongera ku nnyingiza mu maka.
Adam Lubega omu ku ba dayirekita ba kampuni ya “Wakiso City Slaughter's House” eduukanya Lufula y’e Masanafu yagambye nti balina abakyala abasukka 1500, mu kifo kino ssaako n’abavubuka abali mu 1000, bonna betegeefu okuyiira Pulezidenti Museveni akalulu mu 2026.
Akulira ebyokwerinda mu kitundu kino Muhammed Kaweesi yategezezza Namyalo nti ekitundu kyabwe kino ekizibu kye basinga okusanga kuliiko amazzim, amassanyalaze, kubanga balina n’ebyuma bya kasooli kino bwe kinakolebwako kigenda kubeera kiwedde