Rose Namayanja asabye bannayuganda okwongera okuyiira Museveni obululu olw'eddembe lyeyaleeta mu ggwanga

BANNAUGANDA basabiddwa okuddamu okuyiira pulezidenti Museveni obululu n'abakwatidde NRM bendera okusobola okukuuma emirembe n'okutwala mu maaso enkulaakulana. 

Rose Namayanja ng'ayogera eri Bannaluweero
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
BANNAUGANDA basabiddwa okuddamu okuyiira pulezidenti Museveni obululu n'abakwatidde NRM bendera okusobola okukuuma emirembe n'okutwala mu maaso enkulaakulana.
 
Omumyuka wa ssabawandiisi wa NRM Rose Namayanja Nsereko yasinzidde ku kitebe kya disitulikiti e Luweero ng'asisinkanye  abakulembeze ba NRM okuva e Luweero, Nakaseke ne Nakasongola n'agamba nti NRM ekuumye emirembe nga bwe gizannyirwako ebiri mu Ukraine, Palestine n'awalala buyinza okututuukako.
 
Yayongeddeko nti wadde NRM teri kikumi ku kikumi efubye okukola' enguudo, okutumbula eby'obulimi, eby'enjigiriza, okubunyisabamazzi amayonjo, amasannyalaze n'ebirala nga kati ebakamye na kutumbula byanfuna mu maka.
 
Yasabye bannaNRM mu greater Luweero beewale okwerumaaluma bawagire abakwatidde ekibiina bendera basobole okwefunza ebifo ebyabatwalibwako aba NUP.
 
"Mwasuula abaana bammwe ne muwa aba muliraanwa abatalina kye babakoleddenne balya misaala,  kuwakanya gavumenti n'okuyombera gye basaka. Ku mulundi guno tubasaba temwesala nsawo, luno lwooya lwa munnyindo, mmwe mwasiga ensigo era mmwe mulina okukungula kuba ebitundu by'eggwanga ebirala byategeera emirembe gye mwaleeta era biyimba NRM", Namayanja bwe yagambye.
Rose Namayanja ng'ayogera e Luwero

Rose Namayanja ng'ayogera e Luwero

 
Namayanja yategeezezza nti Museveni  agenda kuddamu okufuga kuba ebibiina ebivuganya tebyetegese kutwala buyinza n''akunga Abayannaka baleme kuva ku mugendo kufuuka kaasa balonde abantu abanaabasakira.
 
Abalimi baaweereddwa endokwa z'emmwanyi, amatumdubaali, obuuma obukongola kasooli, obusala omuddo gw'ente, can z'amata n'ebirala Namayanja n'agamba nti NRM teri kikumi ku kikumi naye efubye okukuuma emirembe, okukola' enguudo, eby,'enjigiriza, okubunyisa amasannyalaze, amazzi amayonjo.
 
Ba minisita Wilson Muluuli Mukasa, Alice Kaboyo, Bright Rwamirama baalaze gavumenti byekoledde greater Luweero ne byegenda okukola ne basaba bagyongere obuwagizi etuukirize byefumba naddala ennyingiza mu maka.
 
Abakulembeze baategezezza nti abantu okulonda ab'oludda okuvuganya baali balaga busungu lwa bisuubizo ebitatuukirira, okugobaganyizibwa ku ttaka , abavubi okugobwa kunnyanja, obwavu, abaana baabwe obutafuna mirimu n'ebirala.