POLIISI etandise ebikwekweto okufuuza emmotoka z'amasomero eziri mu mbeera embi, n'abo abatikka abaana akabindo.
Mu ngeri y'emu era, poliisi eyongedde abasirikale baayo ku nguudo n'okusuula emisanvu egy'enjawulo, okukangavvula abavuzi b'ebidduka ab'ekimama n'abo abavuga endiima naddala mu kiseera kino ng'abayizi badda ku masomero.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, ategeezezza nti mu kiseera kino, batunuulira n'okwebejja emmotoka okukakasa nti ddala ziri mu mbeera nnungi okwewala obubenje.
Asabye abazadde, okugulira abaana ebikufiira nga batambulira ku boda boda , n'okwewala okubatikakkako akabindo