DOHA, Qatar
AMAWANGA ga Buwarabu gateesezza okukola eggye ery’awamu n’okukung’aanya
yokulwanyisa okwang’anga Yisirayiri nga bali kitole, okusobola okukomya ejjoogo lyayo n’okukkakkanya amampaati agagisusse mu kitundu.
Mu lukung’aana lw’amawangaga Buwarabu olwatudde e Qatar kibuga Doha eggulo, amawanga okuli Misiri, Iran ne Pakisitan, gaavuddeyo bukuukuubira ne gakulemberamu eky’okukola eggye ery’awamu okusobola okwang’anga Yisirayiri.
Olukung’aana luno lwayitiddwa mu bwangu, oluvannyuma lw’obulumbaganyi Yisirayiri bwe yakola ku Qatar wiiki ewedde, bwe yasuula bbomu ku kizimbe okwali abakulembeze b’akabinja ka Hamas akalwanira e Palestine abaali bagenda okuteesa ku
ndagaano y’okukomya olutalo e Gaza.
Wabula abakulembeze ba Hamas baasimattuka obulumbaganyi buno, kyokka abayambi baabwe n’omwana w’omukulembeze omu baafiiramu, kwossa omuserikale wa Qatar eyali akuuma ku kizimbe kino.
Kati amawanga ga Buwarabu mu kugezaako okutangira ejjoogo lya Yisirayiri, mu lukung’aana lwe baatuuzizza eggulo ku Mmande, baateesezza okukola eggye ery’awamu eryefaanaanyirizaakong’erya North Atlantic Treaty Organization (NATO), nga buli mmemba abeera alumbiddwa bonna kibakakatako okumulwanirira.
Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Newsweek, obulumbaganyi Yisirayiri bw’ekoze ku mawanga okuli Iran, Lebanon, Qatar, Yemen, n’olutalo w’e Gaza, Abawarabu bakiraba
nga kati Yisirayiri kye kizibu eky’amaanyi ekisibye okulwanagana mu kyondo kya Buwarabu nga bateekwa okukinogera eddagala nga bukyali.
Eyaliko omuduumizi w’eggye lya Iran erya Islamic Revolutionary Guard Corps, Mohsen Rezaei, nga musajja wa Ayatollah ow’oku lusegere yagambye nti eddagala lyokka erisigaddewo okuvumula ejjoogo lya Yisirayiri, kwe kukola egye ery’awamu lyang’ange Yisirayiri bagikube ekkakkane amampaati kubanga bwe baneegatta, ne America ebikkirira Yisirayiri eba tejja kusobola kubang’anga.
Yalabudde amawanga okuli Saudi Arabia, Turkey, ne Iraq, nti singa tebeegatta na bannaabwe, nabo tebeeyibaala, Yisirayiri essaawa yonna egenda kubalumba, ate ekigendererwa kyayo kya kulaba ng’eyongera okugaziwa, ekintu eky’obulabe ennyo. Ate ye Minisita wa Pakistan ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Mohammad Ishaq Dar, yategeezezza omukutu gwa Aljazeera nti akakiiko k’amawanga amagatte ak’obutebenkevu tekalina kye kakozeewo okukoma ku Yisirayiri, nga bakoma ku kuvumirira, ekiraga nti ensi yonna si by’eriko ng’amawanga g’Abasiraamu y’essaawa okwekwatiramu mu by’okwerinda byago.
Yayongeddeko nti eky’amagezi kye basobola okukola era ekigenda okuzzaamu abantu baabwe amaanyi, kwe kukola eggye ery’awamu, ate bo ab’e Pakistan balina ne bbomu za nukiriya, ze basobola okusabuukulula singa Yisirayiri egezaako okukozesa nukiriya. Embeera eno evudde ku lutalo lwa Yisirayiri e Gaza, olwatandika nga October 7, 2023, abakambwe ba Hamasn we baayingira mu Yisirayiri ne bakola obulumbaganyi mwe battira abantu 1,200 n’okuwamba abasoba mu 250.
Mu kwanukula Yisirayiri yaggulawo olutalo olugenda okuweza emyaka ebiri nga luyinda, omufiiridde abantu abakunukkiriza emitwalo musanvu e Gaza.