Maj Gen Muzeeyi Ssabbiiti agenze akuba ku matu

Maj Gen Muzeeyi Ssabbiiti, agenze akuba ku matu mu ddwaaliro gy'ajanjabirwa oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje ku wiikendi.

Maj Gen Muzeeyi Ssabbiiti agenze akuba ku matu
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Maj Gen Muzeeyi Ssabbiiti agenze akuba ku matu mu ddwaaliro gy'ajanjabirwa oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje ku wiikendi.

Akabenja kano, kaabaddewo ku Lwomukaaga mu ttuntu e Kabango ku luguudo oluva e Gomba okudda e Sembabule , Maj Gen Ssabbiiti bwe yabadde mu mmotoka y'amagye ekika kya Land Cruiser V8 nnamba H4DF bwe yakoonaganye ne loole nnamba  UDP 982L .

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka,  Micheal Kananura, ategeezezza nti mu kiseera kino Maj Gen Ssabbiiti nga ye General manegya wa Luweero Industries era nga yaliko amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, agenze akuba ku matu.

Agasseeko nti okunoonyereza ku kyavuddeko akabenje kano, kugenda mu maaso