EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa densite (NIRA) kyagala kwongezebwa nsimbi okukiyambako mu kuwandiisa abantu okugenda mu maaso okwetooloola eggwanga nti eziriwo zaakubayamba okutuusa nga October 2025.
Bino byogeddwa Andrew Apedel akulira okuwandiisa satifikeeti z’okuzaalibwa wamu n’ezaabakuzibwa (Birthdate and Adoption) mu nsisinkano gye babaddemu ne bannamawulire abagasakira ku palamenti e Kololo mu kukuza olunaku lwa National Identity Day bwe babadde batangaaza ku buzibu bwe basing’aana nga bakola okuzza obuggya desinte.
Owa Nira Ng\ayambako mu kuwandiisa omwana
Apedl agambye nti baaweebwa obuwumbi obusoba mu 666 okukola omulimu guno wabula nga mukadde kano basigazzaawo ntono nnyo ky’agambye nti kiyinza okuzing’amya obuweereza bwabwe eri bannayuganda abali eyo mu bukadde 5 kubanga ku bukadde 18 abasuubirwa okuwandiisibwa, obukadde 13 bwokka bwe bwakamalirizibwa.
Ekitongole era kyagala ensimbi okuwandiisa ebintu ebiri wansi w’amateeka gamba nga abaana abakuzibwa obukuzibwa, obufumbo, satifikeeti z’okufa nti bino nabyo nga bya mugaso wabula nga yadde ng’okuwandiisa densite kubaawo, byo bino tebiweebwangako nsimbi biwandiisibwe.
Christopher Kantinti, akulira ebya tekinologiya ku NIRA asambazze ebibungeesebwa nti okugaba desinte empya kujjudde obusosoze nga basooka banene bokka omuli ba MP era n’asaba bannayuganda bonna abeewandiisa okubeera abagumiikiriza nti kubanga ku bukadde 13 obw’abantu, ekitundu 1 n’obutundu 71 zokka ze zaakafulumizibwa.
NIRA era etegeezezza nti densite 13,000 ezibaddeko ensobi ze zitereezeddwa mu kadde kano nga n’abali mu mawanga g’ebweru nga Dubai, UAE, Kenya, Rwanda n’alala nabo bangi bawandiisiddwa okuzza obuggya ezaabwe.