Basibye babiri lwa kuloga Pulezidenti

KKOOTI y’e Zambia yeewuunyisizza ensi, bw’esindise abasajja babiri mu kkomera,oluvannyuma lw’okubasingisa omusango gw’okugezaako okuloga Pulezidenti Hakainde Hichilema n’ekigendererwa eky’okumutta!

Basibye babiri lwa kuloga Pulezidenti
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

LUSAKA, Zambia
KKOOTI y’e Zambia yeewuunyisizza ensi, bw’esindise abasajja babiri mu kkomera,
oluvannyuma lw’okubasingisa omusango gw’okugezaako okuloga Pulezidenti Hakainde Hichilema n’ekigendererwa eky’okumutta!
Abasajja bano kuliko munnansi wa Mozambique, Jasten Mabulesse Candunde n’omukulembeze w’ekyalo ekimu e Zambia, Leonard Phiri. Kigambibwa nti Mabulesse
mulogo kkungwa, eyapangisibwa okuva e Mozambique nga masinale, akole eddagala eryali ligenda okutta Hichilema.
Kigambibwa nti Mabulesse omulimu yali agenda kugukola ne Phiri, omukubi w’ensaasi kayingo mu Zambia, gwe bagamba nti alina buli jjembe, ebiteega, emisambwa, na buli kimu ekitambulira mu mpewo nga kisobola okutuusa obulabe ku muntu.
Okunoonyereza kwalaze nti ‘Bamutuula ku ngo’ bano baali bapangisiddwa muganda wa munnabyabufuzi atakkaanya na gavumenti, Emmanuel “Jay Jay” Banda, n’ekigendererwa eky’okusindikira Pulezidenti Hichilema eddogo ave mu bulamu bw’ensi, nga bamulanga okutuntuza munnabyabufuzi Emmanuel Banda.
Omwogezi wa Poliisi y’e Zambia, Rae Hamoonga bwe baali baakakwata ababiri bano, yategeeza nti Poliisi yabasanga n’ebyawongo ebiyirivu, omwali obusonko, amagi ag’enziriza, amayembe g’ensolo z’omu nsiko, amaliba g’emisota, ne nawolovu omulamu, nga bino bye baali bagenda okukozesa okusaanyaawo Pulezidenti. Era Poliisi yagamba nti abakwate bakkiriza misoni gye baali bagendako, era baali bakkaanyizza okusasulwa ddoola za America 7,400 ( mu za Uganda 25,925,604/).
Omulamuzi Fine Mayambu mu nsala ye yakkaanyizza n’oludda oluwaabi nti ababiri bano baali bagenderedde okutta Pulezidenti nga bayita mu kutabula eddogo, era n’abasiba emyaka ebiri nga kwe bagasse okukola emirimu emikakali nga bali mum kkomera. Hichilema abadde Pulezidenti wa Zambia okuva nga August 24, 2021 oluvannyuma lw’okumegga Pulezidenti Edgar Lungu eyaliko.