MUSEVENI: Agabidde aba bodaboda obuwumbi 10

PULEZIDENTI Museveni agabidde aba bodaboda mu Kampala ne Wakiso obukadde10,200 (obuwumbi 10.2) ez’okwekulaakulanya basobole okweggya mu bwavu.

Pulezidenti Museveni ng’akwasa aba bodaboda abaakulembeddwa Frank Mawejje ceeke ya buwumbi 10.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni agabidde aba bodaboda mu Kampala ne Wakiso obukadde
10,200 (obuwumbi 10.2) ez’okwekulaakulanya basobole okweggya mu bwavu.
Yasinzidde ku mukolo kwe yabasisinkanidde eggulo ku kisaawe  e Kololo nga ssente yaziyisizza mu bibiina byabwe ebya SACCO ebiwera 102.
Pulezidenti yakuutidde aba bodaboda okufaayo okulondoola  enkozesa ya ssente z’abawadde lwe bajja okuziganyulwamu nga bagula bodaboda empya. Omwaka bwe guggwaako ssente bazizze mu kibiina nga kuliko amagoba amatono n’abalala
basobole okuzeewola.
Enkola y’okuyamba aba bodaboda, Pulezidenti yagambye nti, yagitandikako mu 2011 naye ne batamuwa mbalirira ku nkozesa ya ssente n’aggwaamu amaanyi.
Mu kiseera kino batandisebupya okubayamba bagule bodaboda empya, wabula n’abalabula nti, si za kusasula ba ‘mone ender’, era nga zaakuweebwa
abo abasangiddwa ku siteegi.
Ku nsonga ya nnamba za digito, yagambye nti, pulojekiti yali etandise bulungi naye
n’eyingiramu abafere abaagala okunyunyuta ssente z’abantu n’eyimirira wabula nga yasuubizza nga bwe kijja okugonjoolwa.
Ssentebe wa bodaboda mu Kampala, Frank Mawejje yeebazizza Pulezidenti olw’okubakuba enkata enzito awamu n’abantu be yabawa okubayamba okuli akulira ebyensimbi mu maka g’obwapulezidenti, Jane Barekye, Maj. Gen. Christopher Ddamulira, Minisita wa Kampala. Minsa Kabanda be baagambye nti, babayambye nnyo.
Kyokka baaloopedde Pulezidenti ebimu ku bikyabasoomooza okuli; ba ‘money lender’ ababawola ssente eziriko amagoba amangi, ssente z’okufuna pamiti ennyingi, okubakwata ku makubo, n’ebirala. Uganda egambibwa okuba ng’erina abavuzi ba bodaboda akakadde kamu n’emitwalo 30 nga Kampala yokka erinako ekitundu kimu kyakusatu.
Ssente ezaabaweereddwa bagenda kuzifuna nga bazeewola okuva mu SACCO zaabwe ku magoba amatono. Minisita w’ensonga z’obwapulezidenti, Milly Babalanda yeebazizza Pulezidenti olw’omutima ogulumirirwa buli muntu n’agamba nti, enguudo ennungi ezikoleddwa k’agasseeko ssente z’okugula bodaboda baakunyumirwa omulimu gwabwe.
Minisita omubeezi owa Kampala,
Kabuye Kyofatogabye yagam-bye nti, bodaboda zikoze kinene okulwanyisa ebbula ly’emirimu naddala mu bibuga ne yeebaza Pulezidenti olw’okubafaako. Yasabye aba bodaboda okusigala nga bali bumu, beewale abantuababaggya ku mulamwa basobole  okwekulaakulanya.
ABAWAGIZI BA NUP BEEGASSE KU NRM
Ebikumi by’abawagizi ba NUP beekuume nnyo sitaani kubanga ye buli kiseera atambula anoonya gw’alya. Yagumizza abeetabye mu lukung’aana luno nti, kye baakoze kabonera ka buwanguzi era n’abasabira Katonda ababeere sitaani aleme kubamira.
Gladys Kiragga, pulezidenti w’abakazi Abakristaayo mu Bulabirizi bw’e Namirembe yalambuludde nti, enteekateeka y’okubuulira enjiri eno yatandika ku Lwakutaano n’embaga ey’awamu era emigogo gy’abagole 50 ne gigattibwa n’ategeeza nti, nga bo abawomyemu omutwe kibakoze bulungi kubanga basobodde okubuulira enjiri mu
bikolwa. Olukung’aana lwetabiddwaako Kaliisoliiso wa gavumenti Beti Kamya.
Kkwaaya ez’enjawulo okuli ez’amakanisa n’ez’abaana ‘bamasomero zaabuulidde enjiri okuyita mu nnyimba.
baasaze eddiiro ne beegatta ku NRM ku mukolo ogwabadde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda ku Kyadondo Road eggulo. Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong ye yayanirizza abaasaze eddiiro n’abeebaza okukola okusalawo okutuufu kuba ge mazima, agajjudde emirembe n’obuweereza eri eggwanga. Abeegasse ku NRM baavudde mu divizoni ettaano ezikola Kampala okuli; Nakawa, Kawempe, Lubaga, Central ne Makindye ekitundu ekibadde kimanyiddwa ng’ekisingamu abooludda oluvuganya. Temwegasse ku kibiina kya NRM kyokka, wabula mweyunze ku mugendo oguyisizza eggwanga mu biseera ebizibu okutuuka we liri ku misingi emigumu egy’enkulaakulana