EMMUNDU entalavvu omubadde amasasi 15, bizuuliddwa omutuuze bw'abadde alima mu nnimiro.
Emmundu ebadde ezingiddwa mu nsawo, ng'esuuliddwa mu kifo ekyo nga yonna etalazze, ezuuliddwa omukyala omu ku kyalo Busowoko Central e Nawampanda mu ggombolola y'e Butagaya e Jinja.
Ebitingole ebikuumaddembe , birowooza nti emmundu, yandiba nga yali ekozesebwa mu bunyazi obw'enjawulo mu bitundu bya Busoga era ng'okunoonyereza ku baagikweka mu kifo ekyo, kugenda mu maaso.
Omuduumizi wa poliisi mu kitundu ekyo, Charles Nsaba, akakasizza okuzuulibwa kw'emmundu ng'okugyekenneenya , kukolebwa.